Ministry yeebyenjigiriza n’ekitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo ebyakamalirizo ekya UNEB bigamba nti ennambika empya ey’ebisomesebwa abayizi mu masomero, yakwongera okuvaamu ebibala, nti kubanga eyongedde okuggumira.
Enkola y’ebibuuzo bya S.4 ey’emyaka 2 egisoose, 2024 ne 2025 yeyolese bulungi nti omutindo gw’abayizi abafuluma mu masomero gwakweyongera okulinnya.
Mu nteekateeka eno, omuwendo gw’abayizi abayita ebigezo nagwo gusuubirwa okulinnya, nga kivudde ku ngeri ebisomesebwa gyebirambikibwamu, n’amasomero okuteekateeka pulojekiti z’abayizi mu budde, nti byebimu ku biyambyeeko omuwendo gw’abaayise ebibuuzo okweyongera nokukira emyaka emirala.
Ebibuuzo ebyakafulumizibwa ebyomutendera gwa S.4 nga byebyomulubdi ogwokubiri mu nkola eyebisomesebwa empya, biraze nti abayizi babiyise nnyo by’ebitundu 99.7%, era abayizi 130 bokka ku bayizi emitwalo 429,949 abaabituula bebaabigudde.
Uneb egamba nti amasomero agasinga gayisizza abayizi mu Result one, era okunoonyereza UNEB kweyakoze ku baakola ebibuuzo kwalaze nti ebyabuuzibwa ebitundu 96% byali byabasomesebwa mu Syllabus.
Abalala ebitundu 75% baagamba nti obudde obwabaweebwa okubituula bwabayamba okubikola obulungi, n’abalala ebitundu 88% baagamba nti ebibuuzo tebyalimu bujogolo bungi nnyo mu ngeri gyebibuuzibwamu.
Dan Odongo, ssenkulu wa UNEB agambye nti okwebuuza ku bantu abakola ebibuuzo, ababigolola n’abasomesa abayizi kibayambako okwekubamu tooci mu byebakola.
Bisakiddwa: Ddungu Davis













