Omutaka Gabunga Ali Mubiru Zziikwa V omukulu w’ekika ky’Emmamba Nnamakaka atuuziddwa okutandika okulamula ekika.

Omukolo gw’okumutuuza guyindidde ku butaka bw’ekika e Ssagala Buwaya mu Busiro.

Emikolo gy’okutuuza Gabunga owa 38 Mubiru Zziikwa James V gitambulidde ku bulombolombo omubadde okutuuziibwa ku Jinja Siryamawolu mu mbuga ya Mulondo, okusumikirwa abantu abenjawulo, okwambazibwa ebikomo ebimuwa amaanyi okulamula ekika , era ono atuuziddwa Omutaka Mulondo atuuza abalidde obwa Gabunga.
Emikolo gy’okutereka mu kibira omubuze Mubiru Zziikwa owa 37 gibadde gigenda mu maaso, nga n’egy’okutuuza omubbulukuse Gabunga owa 38 nagyo bwegigenda mu maaso, era obulombolombo bwonna bugobereddwa.

Omubuze ye taata wa Gabunga owa 38 atuuziddwa.#













