Omutaka omukulu w’ekika ky’e Mmamba, Gabunga James Mubiru Zziikwa V, (Gabunga owa 38) mu butongole ayanjuddwa mu lukiiko lw’Abataka abakulu b’Obusolya.
Omukolo guyindidde mu mbuga enkulu Bulange e Mmengo nga gukulembeddwamu Katikkiro w’ekika Omwami Gerald Kyobe Kaberenge, n’ayanirizibwa Omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka Omutaka Namwama Dr. Augustine Kizito Mutumba.
Omutaka Gabunga ayanjuddwa ne lubuga we Namagero Joanita.
Omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa V yeeyamye okubeera omuwulize eri Ssaabataka Ssaabasajja Kabaka n’eri Olukiiko lw’abataka ate n’okwetabanga mu nkiiko bakulize wamu Obwakabaka.
Ssentebe w’Olukiiko lw’abataka, Omutaka Dr. Augustine Kizito Mutumba asabye bazzukulu ba Gabunga okuyamba ku jjajjaabwe bakuze ekika kyabwe n’okukikuumira waggulu, kubanga kika kinene ddala ate nga kya kitiibwa nnyo mu Buganda.
Abasabye okulongoosa embuga z’obutaka bwabwe zonna era bakikolereko eby’enkulaakulana.
Mu ngeri ey’enjawulo Omutaka Namwama yeebazizza nnyo bannaddiini abakyajjukira obuvo bwabwe n’abasaba bakinywerereko n’okukyagazisa abalala.
Mu bannaddiini era bazzukulu ba Gabunga abazze ne jjajjaabwe kubaddeko Omulabirizi w’e Mityana Bishop James Bukomeko Ssaalongo ne Rev Fr. John Frances Mubiru okuva mu kigo ky’e Kitovu mu Buddu.
Omutaka Gabunga James Mubiru Zziikwa V yeyadda mu bigere bya kitaawe Omutaka James Mubiru Zziikwa IV eyabula (eyafa) gyebuvuddeko.
Omukolo gwetabyeko Ab’amasiga 35 gonna agali mu kika ky’Emmamba, Ab’emituba egy’etuukira, abawabuzi b’ekika n’abazzukulu abalala bangi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.