Omutaka w’Akasolya k’ekika kye Nseenene Jjaja Omutaka Kalibbala Adnan Nsozi akubirizza bazukuulu be okwongera okwetanira emirimu egikulakulanya ekika kyabwe.
Omutaka Kalibbala abadde Kiryanyonza mu Ggombolola ya mumyuka Kalamba mu ssaza Butambala bwabadde akyaliddeko bazukuulu be abasibuka mu ssiga lya Kalanzi mu lugo Butambala.
Omukubiriza w’olukIiko lwa Buganda eyawummula Owek Nelson Kawalya akubirizza bazukulu ba kalibaala okufaayo okulongosa embuga z’amasiga gebavamu.
Owesiga lya Kalanzi mu Lugo ssewanyana Edward asabye bazzukulu ba Kalibaala okufuba okunyweza obumu.
Omubaka wa Kalibaala mu ssaza lye Butambala era nga ye Katikkiro ow’essiga hajji Musa Kajubi Kalanzi awanjagidde Abavubuka b’e kika kye Nsenene okwongera amAanyi mu kukola olwo basobole okwekulakulanya.
Omwami wa Kabaka akukulembeera e Ggombolola ya Mumyuka Kalamba Mumhmedi Kibalama, asabye abantu ba Kabaka okutekesa munkola ekiragiro kya Nyininsi eky`okulwanyisa akawuka akasasanya obulwadde bwa mukenenya.
Bisakiddwa: Musisi John