Ekitongole kya makomera kiguddemu ekyekango, omu kubasirikale bakyo bwakmakanye ku bakamabe 3 n’abakuba amasasi agabatiddewo.
Asse bakamabe ye Anguyo Moses, ng’abattidde mu komera lya Government erisangibwa e Kiboga.
Abatiddwa kubaddeko ASP Hope Catherine abadde amyuka akulira ekomera eryo, Akishuri Bridget saako Ayebale Sarah abadde mukyala w’akulira ekkomera lino.
Police n’ebitongole ebikuuma ddembe ebirala biyitiddwa bukubirire okuzza embeera munteeko, era emmundu egambibwa nti omutemu gyakozesezza ezuuliddwa.
Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera Frank Baine Mayanja agambye nti tebanamanya kitanudde musirikale ono kusasiira bakamaabe masasi, batandise okunoonyereza.
Frank Baine agambye nti batandise okuyigga omutemu yonna gyeyekukunye.
Abamu ku berabiddeko balumiriza nti Moses Anguyo bakamabe basoose kumusanga ngali ku ssimu aseereza mu budde obwòkukola nebamugambako.










