Nnamukisa wa Sabula Bingo ku CBS Omumbejja Ritah Nakamaanya akwasiddwa emmotoka ye kapyata gyewangula nga 29 June,2025 CBS radio bweyali ejaguza emyaka 29 ng’eweereza.
Emmotoka eno kapyata UA 012AW Toyota Noah emukwasiddwa Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe, ku kitebe kya CBS ku Masengere e Mengo.

Omuk. Kawooya Mwebe amwebazizza olw’okwagala ennyo enteekateeka za Radio eno n’okugenda mu maaso n’enkola yeemu.
Omumbejja Nakamaanya mutuuze w’e Buloba Busiro, era yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka eyatandikawo CBS emutuusizza ku nkulaakulana.

Abantu abenjawulo bazze bawangula ensimbi eziri wakati w’emitwalo 100,000/= n’obukadde bwa shs 7, mu Ssabula Bbingo ku CBS.
Ku ssimu yo oteekeddwa okuba nga wakiri olinako shs 2000/= ezikuyingiza ku kazannyo, awo onyoge *238*5#.
Ensimbi ziwangulwa buli lunaku mu program za CBS ez’enjawulo ate n’ebirabo ebikalu bingi byakuwangulwa nga tujaguza emyaka 32 egy’Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka.#













