Police etandise okunoonyereza ku kivuddeko omuliro ogukutte ekisulo ky’e ssomero Nakanyonyi Girls SS mu kibuga Jinja, kyonna nekisaanawo n’ebintu by’abayizi nebitokomoka.
Omuliro gukutte ku ssawa bbiri ezekiro kya nga 09 April,2026, abayizi babadde mu kusoma kw’ekiro era tewali noomu ayidde.
Abatuuze abaliranyeewo badduukiridde mangu nebagezaako okuguzikiza naye negubasinza amaanyi, okutuusa Police y’abazinnyamwoto wetuukidde netaasaki ebimu ku bintu by’abayizi.
Bisakiddwa: Fred Kirabira












