Omuliro ogukutte akatale ke Katwe mu Kampala, guteeberezebwa okuba nga gutandiise ku saawa nga ttaano ez’ekiro kya nga 15 March,2026 nga wegukwatidde abasuubuzi baabadde bannyuse dda.
Nsambu Joseph ssentebe w’abasuubuzi ku madduuka agali ku katale kano agambye nti abasuubuzi abasinga obungi tebasigazizza kintu neekimu.
Nsambu anyonyode nti Omuliro guno gwandiba nga guvudde ku masanyalaze nti kubanga gaabadde gaavuddeko olukomyewo omuliro negukwata.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif











