Omuliro ogutandise ku saawa munaana ez’emisana gusaanyizzaawo ekisulo ky’abayizi ba Bukonte Seed secondary school e Namutumba mu Busoga.
Mu kiseera wegukwatidde abayizi bonna babadde mu bibiina, era tewali noomu ayokeddwa okujjako ebintu byabwe ebifuuse omuyonga.
RDC we Namutumba Matende Thomas atuuseeko ku ssomero lino okwetegereza embeera,n’agamba nti gwandiba nga guvudde ku masannyalaze nti kubanga obwedda gavaavaako.
Asiimye abayambye okuzikiza omuliro guno negutasasanira bisulo birala.
Bisakiddwa: Kirabira Fred