Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, abikidde Obuganda, olw’okuseerera kw’Omulangira Daudi Golooba avudde mu bulamu bw’ensi, ku myaka 71 egy’obukulu.
Omulangira Ggolooba aseereredde mu ddwaliro e Nsambya gy’abadde ajjanjabirwa, obulwadde bwa sukaali.
Omulangira Golooba mwana wa Ssekabaka Muteesa II, era mukulu wa Ssaabasajja Kabaka.
Omulangira Daudi Ssimbwa Ggolooba yaseeredde okuva mu ddwaliro e Nsambya , gyaamaze akabanga nga asumbuyibwa obulwadde bwa Ssukaali, oluvannyuma lw’okujanjabibwako mu mawanga amalala natafunawo njawulo.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Omulangira Daudi Ggolooba agenda kuziikibwa enkya nga 25 February,2025 mu masiro e Kasubi.
Wakutekebwaako Omusika oluvannyuma lwokuterekebwa, era emikolo emikulu gyakukulemberwamu Kasujju Lubinga.
Katikkiro yebazizza Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ii olwokulabirira mugandawe nÓkumuwanga Obudde.
Olukiiko oluteekateeka okutereka Omulangira lukulemberwa Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Dr Hajji Twaha Kawaase Kigongo, amyuukibwa Owek Anthony Wamala minister wÓbuwangwa nÉnnono, Embiri nébyokwerinda, Owek Noah Kiyimba, Owek Israel Kazibwe ,Owek Bbaale Mugera ne Omuk Joseph Mugagga.
Omulangira Daudi Ssimbwa Ggolooba yabeera nnyo n’Abaganda mu Bungereza mu kiseera nga Obwakabaka tebunnaddawo, era yakola nnyo okubakumaakuba n’okubazzaamu essuubi.
Omulangira yazaalibwa nga 14 April, 1953 naava mu bulamu bwensi nga 22 February,2025.
Yasomera ku Buddo Junior Kabinja, Kings College Buddo, ne Makerere University gyeyafunira degree mu by’obufuzi.
Omulangira mu 1982-1986 yasomerako ku ttendekero lya Center for Marketing and management studies e Bungereza , yakolerako UCB eyafuuka Stanbic Bank, n’emirimu emirala mingi.
Gutusinze nnyo ayi Ssaabasajja Kabaka, twakuumye bubi!