Omukulembeze wekibiina kya National Unity Platform agambye nti wakukozesa ensimbi eziteekebwa mu nsawo yeggwanga etatunulwaamu emanyiddwanga classified Budget okwongeza emisaala gyabakuuma ddembe, asookerwaako mwaanafunira akakadde 1 buli mweezi singa atuuka mu ntebbe yobukulembeze bweggwanga.
Robert Kyagulanyi Ssentamu asinzidde mu district ye Pakwach enkya yaleero gyatongoleza kampeyini ze mu butongole, naagamba nti okuva lweyayanjula enteekateeka yokwongeza emisaala gyabakuuma ddembe, abali mu gavument ya NRM babadde bakuba ebituli mu manifesto ye eno ku kikwatagana nokwongeza emisaala gino, naagamba nti trillion eziri mu 3 eziteekebwa mu nsawo eno nga nebyezikola tebimanyiddwa, zajja okukwaatako ayongeze emisaala gyaabwe babeere mu mbeera eyeyagaza ngábakozi gavument abalala.
Robert Kyagulanyi ssentamu, abakuuma ddembe abakozesa eryaanyi kubannabyabufuzi abavuganya gavument, abasabye eryaanyi lino balikendeeze kubanga bannabyabuffuzi bano balwanirira bbo, nabo babeereko mu mbeera ennungu nga basasulwa emisaala emirungi, atenga bawangalira mu mbeera eyeyagaza.
Robert Kyagulanyi assuubiza okutereeza ebyentambula okuli okuzimba enguudo ezigatta ebitundu ebyenjawulo, okuzaawo eggali yomukka eyaali ettuuka mu kitundu ekyo eyasaanawo okutuusa amasanyalaze mu kitundu kino agamala buli munnansi , okutereeza ebyobulamu nga buli muluka gujja kuzimbibwaamu wakiri eddwaliro erisookerwaako eririmu ekifo abakyaala webazaalira singa anaatuuka mu ntebbe yobukulembeze bweggwanga
Robert Kyagulanyi Ssentamu asabye ebe Pakwach bekolemu tiimu yabantu 20 – 20 ku buli kyaalo egenda okukuuma akalulu kalemwe kubbibwa.
Kyagulanyi assuubiza abantu bekitundu kino nti singa bamutuusa mu ntebbe ekibba ttaka nekisengula bantu ekiri mu bendobendo lya West Nile ekikolebwa abantu bagambye nti balina ssente nobuyinza nga bakozesa emmundu kiggya kukomezebwa.
Kyagulanyi oluvudde e Pakwach ayolekedde Nebbi, gyanaava akomekereze kampeyini ze olwaleero mu district ye Arua olunaku olusoose, wabula abeeno abawanjagidde nti obubaka bwe babwongezeeyo butuke ku buli omu kubanga obudde obutono obwabaweebwa tasobola kutuuka ku buli songa nemikutu gyamawulire kiyinza okubeera ekizibu ennyo ebitongole ebikuuma ddembe okumukkiriza okukyaazibwaayo