Police mu district ye Luweero ekakasizza nti Omujaasi wa UPDF RA 275589 LCPL,
Moses Edongoto afiiridde mu kabenje akagudde mu bitundu bye Kalule- Bombo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.
Abadde atambulira ku mmotoka ewerekera minister omubeezi ow’ebyokwerinda n’abaazirwanako, Huda Olele.
Edongoto afiiriddewo mbulaga ate abajaasi babadde nabo abalala 6 kwossa n’abantu babulijjo 2 bafunye ebisago ebyamaanyi
era nebaddusibwa mu ddwaliro ly’abajjaasi e e Bombo (General Military Hospital Bombo).
Omwogezi wa Police mu tundutundu lya Luweero ASP Sam Twiinamazima agambye nti akabenje kano kavudde ku muvuzi w’emottoka kika kya Fuso No. UAN 394Z abadde ava e Kampala ng’adda Luweero.
Owa Fuso abadde agezaako okuyisa naayambalira emmotoka y’abajjaasi abakuuma minister Huda ababadde ku motoka yabakuumi kika kya Toyota Hilux registration UG 0388D ebadde eva oludda lwe Luweero ng’edda Kampala.
Emotoka ezibadde mu kabenje kano mu kiseera kino zikuumibwa ku Police e Bombo ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.
Twiinamazima asabye abagoba be bidduka okwewala okuvugisa ekimama n’okuyisa awatetagisa kyagambye nti kye kiviriddeko akabenje kano. #
Bisakiddwa: Taaka Conslanta










