Bannakatemba n’emizannyo mu Uganda bali mu kiyongobero baviiriddwako empagi ebadde eyamaanyi, Omugave Ndugwa Joseph Ssemakula.
Omugave Ndugwa y’eyatandikawo ekibiina ki Black pearls ne riverside theatre, era bannabyamizannyo bangi abagundiivu wano mu Uganda baayita mikono gye.
Omugave Ndugwa abadde mubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu South California mu America.
Omu ku b’oluganda lw’omugenzi nga ye Haji Abby Mukiibi era nga yakulira ebiweerezebwa ku mpewo za Cbs ategezeza nti omugenzi abadde atawanyizibwa ekirwadde ekya Kokolo okumala ekiseera.
Omugave Ndugwa Joseph Ssemakula afiiridde mu America mu Ssaza lye California.
Haji Abby Mukibi ategezezza nti mu kiseera kino bakola ku nteekateeka ez’okuzza kuno omubiri gwo mugenzi.
Andrew Benon Kibuka munakatemba omutuutumufu mu gwanga abanji gwebamanyi nga Ddube atasasula Bodaboda, omugenzi amwogeddeko nga omuntu akoze omulimu omukulu ennyo mu kisawe kya Katemba, bangi abali mu mulimu guno kwebatambulidde ekiseera kyonna.
Omumbejja Mariam Ndagire agamba nti omugezi abadde ayagalanyo okutumbula ebitoone byabantu naddala emiti emito, era nti abadde muwandiisi mulungi.
Agambye nti kyasinga okumwenyimirizaamu kwekuba nti yabawa omukisa n’abatendeka okuzannya n’okuwandiika emizannyo awatali kukotoggera muntu yenna, wadde okubasaba ensimbi.
Mariam Ndagire yennyamidde olw’okuba ng’emizannyo gy’omugenzi Omugave Ndugwa mingi gy’awandiise wabula tegikubiddwa mu byapa, abalijja okugisomomako so nga girimu eby’okuyiga nkumu.
Charles James Ssenkubuge ategezezza nti omugenzi abadde muntu ayagaliza era nga musomesa mulungi, nti naye amuyigiddeko bingi.
Bisakiddwa : Nakato Janefer