Ku ssaawa musanvu n’eddakiika 57, leero nga 01 April,2022 omubiri gw’abadde sipiika wa Parliament Jacob Oulanyah gutuusiddwa mu ggwanga, mu nnyonyi ya Ethiopian airlines.
Omubiri gwa Jacob Oulanya bwegubadde gukomezebwawo ku kisaawe Entebbe,abakulu mu government abakulembeddwamu omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Jessica Alupo, sipiika wa parliament Anita Among, Ssabalamuzi w’eggwanga Alphonse Owinyi Dollo, omumyuka wa sipiiika Thomas Tayebwa, omumyuka wa president eyawummula Edward Kiwanuka ssekandi, ba minister n’ababaka ba parliament babaddeyo era abamu kubbo boozeza ku mmunye wamu naaboluganda lwe.
Gutuusiddwa mu kibangirizi ky’ekisaaawe ky’ennyonyi Entebbe ewatuukira abakungu, ekimanyiddwanga ki VVIP.
Abakulu mu police y’eggwanga bebagusitudde okugukwasa aba A-Plus Funeral Management.
Wabaddewo okusimba ennyiriri,mu babeby’okwerinda n’abakulu mu government, olwo omubiri negutambuzibwa ku kiwempe ekimyufu okugyayo ekitiibwa omugenzi kyabadde eweebwa mu ggwanga lino.
Ennyimba z’obuwangwa ezab’Acholi nebivuga ebyenjawulo ebigyayo ekifanaanyi kyokukungubaga zikoolobezeddwa.
Jacob L’Okoli Oulanya mu bitiibwa by’eggwanga abadde nnamba sattu, kubanga yabadde sipiika wa parliament, songa mu kibiina kya NRM ekiri mu buyinza,abadde mumyuka wa ssentebe w’ekibiina mu bukiika kkono bw’eggwanga
Oulanyah yafa nga 20 march,2022 mu kibuga Seattle ekya United States of America,gyeyali atwaliddwa okujanjabibwa.
Jacob Oulanyah yaliko omumyuka wa sipiika okumala emyaka kkumi,okuva nga 2011 okutuuka 2021.
Nga 24.May 2021 lweyalondebwa ku bwa sipiika bwa parliament,wabula yafuna obukosefu era entuula z’akubirizza nga sipiika zibalirwa ku ngalo,okutuusa mukama lweyamujjuludde.
JAcob Oulanyah ye sipiika asoose okufiira mu ntebe okuva mu 1962 Uganda lweyafuna obwetwaze.
Okuva ku kisaawe e Ntebe omubiri gwa Oulanyah gukwasiddwa kampuni ya A-plus.
Okusinziira ku minister w’ensonga za president era ssentebe w’enteekateeka z’okuziika minister Milly Babalanda,omugenzi wakugibwa mu maka ga A-plus ku sunday atwalibwe mu maka ge e Muyenga
Wakusulayo okutuuka ku lwokubiri lwanaggibwayo atwalibwe mu parliament okumukungubagira.
Wakusuzibwa mu parliament gyanagibwa ku lw’okusatu atwalibwe mu kisaawe e Kololo, awategekeddwa emikolo gy’eggwamga egy’okumukungubagira n’okumusabira.
Olunagibwa e Kololo wakussibwa ku nnyonyi atwalibwe e Lubogi mu district ye Omoro ku butaka.
Olwo ku lwokutaano nga 08 April,2022 aziikibwe.
Olunaku lw’okutaano kwagenda okuziikibwa,government yalulangiridde lunaku lwakuwummula mu ggwanga lyonna.