Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okunyweza enkolagana yaabwo n’Olulyo Olulangira olw’e Bungereza, mu nteekateeka y’okuyamba abavubuka n’abakyala abetaaga obukuvu obwenjawulo nga babukola.
Bwabadde akyazizza Omubaka wa Bungereza mu Uganda Omuggya Lisa Chesney mu Mbuga ya Bulange e Mengo , Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Buganda yaakusigala ng’essa ekitiibwa mu Nkolagana eno, nga bweyalambikibwa Omulangira Edward Owe Bungereza bweyali akyaddeko embuga.
Omubaka wa Bungereza mu Uganda Lisa Chesney, agambye nti enkolagana wakati wa Buganda n’Olulyo Olulangira mu Bungereza kko ne government yaakuno egendereddwamu okukyusa embeera z’Abantu mu byenfuna, kyokka neyeebaza Obwakabaka akensusso olwokulafuubanira abantu baabwo okubeera Obulungi.
Omugenyi buno bwetabiddwaako minister w’Ettaka n’Ebizimbe Owek David FK Mpanga,Omuk David Ntege akulira ensonga z’Abagenyi mu Bwakabaka ,Ssonga ku ludda lwa Bungereza ebaddeyo abakungu Steven Bikers ne Keith Mutebi.
Bisakiddwa: Kato Denis