Ensimbi akawumbi ka shilling za Uganda 1,001,092,894 (billion emu nákakadde kamu némitwalo mwenda mwénkumi ebbiri mu lunaana mu kyenda mu nnya) zezaasondeddwa abantu ba Ssabasajja Kabaka mu nkola ya Luwalo lwange omwaka oguyise 2022, ku bukadde bwa shilling 800 ezaali zisuubirwa okukunganyizibwa.
Enkola ya Luwalo lwange yatandikawo mu mwaka 2017 omwasonderwa obukadde bwa shilling 202, omwaka 2018 obukadde 414, omwaka 2019 obukadde 515, 2020 obukadde bwa shilling 352 ,2021 obukadde 654, ate 2022 akawumbi kamu n’akakadde kamu.
Ensimbi obukadde 60 bwasasaanyiziddwa ku kulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya, obukadde 100 nebugenda ku nnyumba Muzibwazaalampanga, obukadde 76 bwassiddwa mu nsawo y’Obwakabaka ey’ebyenjigiriza Kabaka Education Fund, Obukadde 283 nebugenda mu Mmwanyi Terimba, obukadde 39 nebugenda mu kusima enzizi z’amazzi amayonjo, obukadde 71 ku kutambuza emirimu mu Mbuga za Ssaabasajja ez’amasaza n’amagombolola, okutegekera abantu ba Kabaka abagya mu Mbuga za Ssabasajja ezenjawulo obukadde 210, obukadde 93 buzziddwa mu magombolola n’amasaza.
Alipoota eno esomeddwa mumyuuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda Past District Governor era omuwanika wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa.
Owek Robert Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti omwaka guno 2023 akawumbi ka shilling za Uganda kamu n’Obukadde bisatu kekasuubirwa ,mungeri yeemu nasuubiza nti enkola ey’abantu okusindika ensimbi mu nkola ya Luwalo Lwange okuyita ku mutimbagano yakutongozebwa.
Essaza Kyaddondo lyeryasinze okusonda ensimbi n’Obukadde 219, Buddu 130, Busiro 95, Kyaggwe 81, Ssingo 80, Bulemeezi obukadde 56,Mawokota obukadde 44, Buweekula 20, Mwogola obukadde ne Busujju obukadde 19,Ssese 17, Gomba 16, Bugerere 13, Butambala ne Kooki obukadde 10,Buvuma 9, Kabula 6 ate Buluuli obukadde 2.
Amasaza amalala agaasonda ensimbi mubaddemu Ankole, Mbale Bugisu, Mabala, Tororo ne Busoga, songa amasaza agali ebweeru wa Uganda mubaddemu North Califonia, New England, Canada, North West Pacific- Seattle, New York /New Jersy, Texas, United Kingdom, South Califonia, Rocky Mountains Region, Mid Atlantic America, Atalanta Georgia ne Scandinavia (Sweden).
Makindye Mutuba III ye gombolola eyasinze okusonda oluwalo yaleese obukadde 63
Bisakiddwa: Kato Denis