Omukulembeze w’ekibina kya National Unity Plat Form Robert Kyagulanyi Ssentamu agamba bannabyabufuuzi abagala okwegata ku kibina kino ku bifo eby’enjawulo balina okusigala nga banywevu naddala mu kisera kino nga ekibina kiriina okusomozebwa okwenjawulo.Kyagulanyi okwogera bino abadde ku mikolo egy’okuziika Omulongo Elis Babirye omukadde abadde amanyiddwa nga Jaaja wa Pipo Power eyafudde olunnaku lw’eggulo nga wafiridde abadde muwagiizi nnyo wa Kyagulanyi olw’okwagala okuleta enkyukakyuka mu ggwanga.