Omwami Kabaka ow’essaza Gomba Kitunzi Owek. Fred Williams Mugabi n’Abamyuka be Ddamulira Patrick ne Ssaalongo Buzigi Moses batuuziddwa mu butongole, ku mukolo ogubadde ku Mbuga y’Essaza Gomba.
Omukolo gukulembeddwamu Minister wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, ne
Minister wa government ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n’Ensonga za Buganda ez’Ebweru Oweek. Joseph Kawuki.
Owek.Mariam Mayanja Nkalubo abalambise okukola obutaweera okuggyayo ekitiibwa kya Ssaabasajja Kabaka awamu n’okukuuma n’okutaasa Nnamulondo.
Abagambye nti essira balina okulissa ku nsonga ezikwata ku bantu ba Buganda.
Omukolo gwetabiddwako abakiise mu Lukiiko lwa Buganda Owek. Ssenoga Ssetanda, Owek. Amos Kaggwa, Abaami Abaamasaza awamu n’abawummuze.