Ab’olulyo Olulangira mu Bwakabaka bwa Buganda nga bakulembeddwamu ab’enju ya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II bategese Ekitambiro kya Mmisa ku lutikko e Lubaga okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Ssekabaka Muteesa II n’okumusabira Omukama amuwe ekiwummulo eky’emirembe.

Giweze emyaka 55 kasookedde Ssekabaka Sir Edward Muteesa II akisa omukono songa era giweze 100 kasookedde azaalibwa nga 19 November,1924.

Emmisa ey’ekitiibwa ekulembeddwamu Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere ng’ayambibwako Omubaka wa Ppaapa Ssaabasumba Augustine Kasujja n’abasaaserdooti abalala.
Bwabadde ayiriza Ssaabasumba Ssemogerere yeeyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okukuuma n’okunyweza enkolagana wakati wa Buganda ne Eklezia.
“Eklezia yeenyumiriza nnyo mu Bwakabaka bwa Buganda olw’enkolagana ennungi”

Ssaabasumba yebazizza ab’olulyo olulangira abaafunye ekirowoozo ky’okujjukira n’okusabira Ssekabaka Muteesa II neyeebaza olw’obwesige bweyassa mu Eklezia omulabe bweyali amunoonya, n’asalawo okufuna obubudamu mu Eklezia.
Ssaabasumba asabye abakulembeze ne banna Uganda bonna okutwalira awamu, okukuuma ekitiibwa ky’amasinzizo ng’ebifo abantu gyebayinza okufunira emirembe ssinga baba bagenzeeyo mu mbeera yonna.
Alaajanidde banna Uganda okutwala eky’okulabirako kya Ssekabaka Muteesa II eky’obwetoowaze n’obuvumu naddala bweyasoomoozebwa abazungu abaali baagala okumuggyako Obwakaba bwe mu lukujjukujju.
Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda, Omumyuka owookubiri era omuwanika Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ayogedde ku Ssekabaka Sir Edward Muteesa II ng’omukulembeze eyali ayagaliza abantu be okubeera mu mbeera ennungi n’okulwanirira obwetwaze bwa Uganda eyawamu.
Agambye nti Ssekabaka Muteesa II yafuba nnyo okunyweza ennono n’obuwangwa bwa Buganda n’okubyagazisa abantu be.
Minisita w’ettaka n’amayumba Owek Fredrick David Mpanga abadde omwogezi ow’enjawulo ayiseeyise mu byafaayo bya Ssekabaka Muteesa II, gwayogeddeko ng’eyali omwagazi w’emirembe, omwagazi w’ensi n’eggwanga lye era ataayuuyizibwa bannakigwanyizi abaali baagala okubba ensi ye ne batuuka n’okumuwangangusa.

Owek. Mpanga agambye nti Ssekabaka Muteesa yali teyeegulumiza omusaazisaazi ng’ayagala nnyo okubeera okumpi era ekyenkanyi n’abantu.

Omulangira David Kintu Wassajja ku lw’Olulyo Olulangira yeebazizza nnyo Eklezia ekyakuumye obwasseruganda obwatondwawo ba jjajjaabe nga n’okutuusa kati omukwano n’oluganda olwo lukyakuumiddwa.
Omulangira agambye nti wadde Kitaabwe yakisa mangu omukono, yabalekera Kabaka Ronald Muwenda Mutebi gyeyategeka okutwala mu maaso Ssemasonga zeyali abazeeko.
“Omulembe Omutebi gwazzaawo Bwakabaka era twebaza nnyo Ssaabasajja Mutebi olw’okutukulembera obulungi n’okutuwa eky’okulabirako…”

Omulangira Wassajja agambye nti waddde waliwo ebisoomooza, naye waliwo obubonero nti bijja kugonjoolwa.
Anokoddeyo Amasiro ga ba Ssekabaka agaateekerwa omuliro n’agamba nti wadde omulimu gw’okugazzaawo gutambudde nga bwegutambudde, gajja kumalirizibwa Ekitiibwa kyago kiddewo nga bwekyali.

Emmisa eno yetabiddwamu Nnaabagereka Sylvia Nnagginda, Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga, Abalangira, Abambejja, ba Ssaava ne ba Nnaava, ba Katikkiro abaawummula okuli; Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Owek. JB Walusimbi, baminisiter ba Kabaka abaweereza n’abaawummula.

Bassenkulu b’ebitongole bya Buganda ababaka ba Parliament, abakulembeze mu government eyawakati n’abantu ba Katonda abalala bangi betabye mu missa eno

Ssekabaka Sir Edward Muteesa II era nga yaliko president wa Uganda yazaalibwa nga 19 November 1924 n’akisa omukono nga 21 November 1969 e Bungereza gyeyali awangangukidde, oluvannyuma lwa kawenkene Obote okulumba olubiri mu 1966 ng’ayagala okumutuusaako obulabe.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K













