Emissa eno ebadde yakubaawo ku Monday nga 23 February,2026, era nga Cathedral Administrator wa Lutikko ye Lubaga father Achilles Mayanja yabadde agirangiridde ku lunaku lwa Sunday nti yakubaayo.
Wadde ng’abantu babadde bakuηaanidde ku lutikko okusabira abantu babwe abali mu nkomyo, balabidde awo nga bategeezebwa nti okusaba okwo kwongezeddwayo.
Wabula bbo bagenze mu maaso nebayimba ennyimba ezitenderenza Omutonzi munda mu klezia n’okusaba essaala nga bagayirira Omutonzi asobozese abantu babwe okuyimbulwa, wadde ng’Abasosolodooti tebalabiseeko.
Oluvannyuma mukyala wa Besigye, Winnie Byanyima ye asinzidde mu Lutikko e Lubaga, nategeeza nti mwennyamivu olwokubanga banna Uganda n’eddembe ery’okusinza lyebabadde balina libajjiddwako.
Byanyima abategeezezza nti Ssaabasumba Paul Ssemogerere yamukubidde essimu akawungeezi ka Sunday, namutegeeza nti Missa eyo yabadde esaziddwamu, olubannyuma lw’okuluηamizibwa omukulembeze w’eggwanga.
Bwebavudde ku kutikko nekuηaanira ku Pope Paul Hotel mu Ndeeba neboogerako eri bannamawulire nebalaga obutali bumativu olw’ebibaddewo.
Omu ku bannanateeka ba Dr. Besigye Ssalongo Erias Lukwago era akulira ekibiina kya People’s Front for Freedom avumiridde ekikolwa eky’okuyingirira emirimu gya Ekeleziya, nategeeza nti Besigye agenda kuddamu okuleetebwa mu kooti ku Tuesday nga 24 February,2026, gyawerennemba n’emisango gy’okulya munsi olukwe.