Government ya NRM ewezezza emyaka 37 kasookedde ekwata buyinza bwakukulembera Uganda mu 1986.
Buli ng’ennaku z’omwezi 26 January, government ya NRA/NRM ejaguza olunaku lwebaatuuna Olw’ameenunula.
Omwaka guno emikolo emikulu egy’ameenunula g’eggwanga Uganda giyindira mu district y’e Kakumiro ku mulamwa ogugamba “Tuteekwa buteekwa okutuukiriza ekisuubizo kyaffe ekyokukyusa eggwanga”.
Abantu 600 bokka bebaayitibwa okwetaba ku mikolo gino era bonna abaayitiddwa bakebeddwa ekirwadde kya Covid-19.
President Yoweri Kaguta Museveni ye mugenyi omukulu.
Ku mukolo guno wakubaawo n’okugaba emidaali egy’enjawulo eri banna Uganda abalondemu abanaasiimwa mu ngeri ey’enjawulo, olwakaweefube gwebaakola mu kwenunula kw’eggwanga.
Government eriko eya NRM, bweyakwata obuyinza yalina emiramwa kkumi kweyasimba amakanda, gyeyasuubira okutambulizaako obukulembeze egimanyiddwa nga;
The ten points program
– Enfuga egoberera amateeka
-Obutebenkevu bw’eggwanga
– Okukuuma obumu mu banna Uganda bonna
– Okulwanyisa enguzi n’obukenuzi wamu n’okulwanyisa okukozesa obubi obuyinza
– okukuuma obutiribiri obwetwaze bw’eggwanga
– okuzimba eggwanga erisobola okweyimirizaawo mu byenfuna
-Okutuusa obuweereza obusaanidde eri banna Uganda n’okuzzaawo byonna ebyayonoonebwa entalo.
-Obwenkanya mu ngabanya ya kkeeki y’eggwanga
– Okukwatagana obutereevu n’amawanga ga Africa amalala mu kutebenkeza emirembe n’okutumbula eddembe ly’obuntu
– Okussaawo emikutu egiyinza okuyamba okutumbula ebyenfuna by’eggwanga.
Museveni n’abayeekera ba NRA baawamba government ya Tito Okello Lutwa mu 1986, gyemyaka kati 37 egyekutte.
Wabula waliwo okutya mu bamu ku banna Uganda naddala abavuganya government ya NRM abalumiriza nti government ya NRM yava dda ku mulamwa ogwabatwala mu nsiko, nga bingi ebyabalwanya byaddamu mu byegiriisa.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.