• Latest
  • Trending
  • All
Okukuza olunaku lw’abazira 2024 – President Museven ayambalidde abaazirwanako abakukkuluma nti government ye tebayambye

Okukuza olunaku lw’abazira 2024 – President Museven ayambalidde abaazirwanako abakukkuluma nti government ye tebayambye

June 9, 2024
President Museveni ayisizza ekiragiro – eyali omulamuzi Augustine Nshiimye Sebuturo aziikibwe mu bitiibwa by’eggwanga

President Museveni ayisizza ekiragiro – eyali omulamuzi Augustine Nshiimye Sebuturo aziikibwe mu bitiibwa by’eggwanga

April 4, 2026
Abagoberezi ba Kristo mu Uganda batambuzza ekkubo ly’omusaalaba – nebavumirira ebikolwa eby’okutulugunya abantu mu ggwanga n’aabenyigira mu bikolwa ebyekko bekomeko

Abagoberezi ba Kristo mu Uganda batambuzza ekkubo ly’omusaalaba – nebavumirira ebikolwa eby’okutulugunya abantu mu ggwanga n’aabenyigira mu bikolwa ebyekko bekomeko

April 3, 2026
Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda luggaddwawo n’okuyisa ennyiingo 6 zebalina okugoberera mu nkola y’emirimu

Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda luggaddwawo n’okuyisa ennyiingo 6 zebalina okugoberera mu nkola y’emirimu

April 2, 2026
Omutemu asanjaze abaana 4 abasanze ku ssomero e Ggaba – abatuuze bamukutte

Omutemu asanjaze abaana 4 abasanze ku ssomero e Ggaba – abatuuze bamukutte

April 2, 2026
Parliament eyisizza etteeka erikwata ku by’okukebera n’okutereka endagaluse ng’ababyetaaga balina kusooka kufuna lukusa – biri mu The Forensics And Scientific Analytical Services bill, 2025

Embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027  ya Trillion 84 eyanjuddwa eri parliament – yeyongedde trillion 12 okuva ku mbalirira ya 2025/2026

Embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2026/2027 ya Trillion 84 eyanjuddwa eri parliament – yeyongedde trillion 12 okuva ku mbalirira ya 2025/2026

April 1, 2026
Government etongozza omwezi gwa April 2026 eri abakozi baayo okwanja eby’obugagga byabwe – bakukozesa omutimbagano

Government etongozza omwezi gwa April 2026 eri abakozi baayo okwanja eby’obugagga byabwe – bakukozesa omutimbagano

April 1, 2026
Emmotoka etwala abayizi ku ssomero etegulukuse neyingirira amaka ga ssentebe w’e Kisala mu Bukomansimbi – abayizi bakoseddwa

Abantu 2 bafudde ekiziyiro kya sigiri e Luweero – omulala ali mu mbeera mbi

April 1, 2026
Parliament eyimirizza eby’okuddaabiriza enguudo mu bitundu – sente akawumbi akamu akaweebwa buli district ababaka bagamba nti tebalaba kyezikola

Parliament eyimirizza eby’okuddaabiriza enguudo mu bitundu – sente akawumbi akamu akaweebwa buli district ababaka bagamba nti tebalaba kyezikola

April 1, 2026
Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwa 2026 – essira liteekeddwa ku kusitula Omutindo mu buli ekikolebwa

April 1, 2026
Kabaka Birthday run 2026 – Aba Uganda Baati, Nalya SS ne East African Medical Vitals bakiise embuga nebagula emijjoozi gya shs bukadde 25

Kabaka Birthday run 2026 – Aba Uganda Baati, Nalya SS ne East African Medical Vitals bakiise embuga nebagula emijjoozi gya shs bukadde 25

March 31, 2026
Uganda ekyalina amafuta agamala wadde nga wakyaliwo okusomoozebwa kw’olutalo lw’e Iran – Government egumizza bannauganda

Uganda ekyalina amafuta agamala wadde nga wakyaliwo okusomoozebwa kw’olutalo lw’e Iran – Government egumizza bannauganda

March 31, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Okukuza olunaku lw’abazira 2024 – President Museven ayambalidde abaazirwanako abakukkuluma nti government ye tebayambye

by Namubiru Juliet
June 9, 2024
in Amawulire
0 0
0
Okukuza olunaku lw’abazira 2024 – President Museven ayambalidde abaazirwanako abakukkuluma nti government ye tebayambye
0
SHARES
208
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

President Yoweri Museveni akangudde ku ddoboozi nálabula abaazirwanako mu lutalo lwékiyeekera olwaleeta NRM mu buyinza, nti bakomye okwekubagiza olutatadde nókusuubirizanga mu kuwebwa obuwebwa buli kintu, wabula bakozese enkola za gavumenti zeyabateekerawo okwekulakulanya.

President Museveni agambye nti NRM mu kujja mu buyinza ebigendererwa byayo mwalimu okukulaakulanya Bannayuganda ngébafunira emirimu, okutumbula ebyamakolero, okunoonyeza ebyámaguzi obutale, okusitula ebyobulambuzi, ebyobulimi, okulwanyisa enguzi nookuteekawo enkola ya demokulasiya ow’ekimmemmette, era nti ye taseseetukangako okuva ku nnono ezo, negyebuli eno awo essira weyaliteeka.

Mwami Museveni asinzidde ku mikolo egyókukuza olunaku lw’abazira egiyindidde mu gombolola y’e Mpenja mu district ye Gomba, gyátegeerezza nti bwakubamu ttooci alaba nti government ye etambulidde ddala bulungi nnyo, kwekusaba abazirwanako okukozesa enkola ya parish development model okwekulakulanya, bave mu kusinda obwavu buli lukya.

President Museveni ng’abadde bumu nómumyuka wa Ssentebe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda Suubi ngávvuunula obubaka bwe, agambye nti government ye eriko enkola nnyingi z’eteereddewo abantu okwekulakulanya, era basaanye berwaneko era bekulaakanye.

Museveni agambye nti ye teyali mujulizi mu kununula eggwanga, wabula ye ne banne bajja kulwanyisa nkola mbi eyaliwo, olwo nno nebafuuka abazira.

Minister avunanyizibwa ku nsonga z’obwa president Milly Babalanda, asiimye nnyo mukamaawe mwami Museveni olwóbugunjufu némpisa zaatadde mu bitongole byonna ebikuumaddembe.

Ku mukolo guno, minister w’ebyettaka nenkulakulana yebibuga, Judith Nabakooba, asinzidde wano naalungamya ku nsonga zettaka ezikyagulumbya banna Uganda emitwe era aliko abasenze bakwasizza ebyaapa ababadde bagobaganyizibwa ku ttaka.mu bitundu bye Gomba ebyenjawulo.

Minister avunanyizibwa ku nsonga z’akanyigo ke Luweero nénsonga zábazirwanako Alice Kaboyo, agambye nti mu mwaka gwébyensimbi guno 2023/2024, ba kaawonawo abasoba mu 300 be baakawebwa akasiimo kabwe, kyoka n’awanjagira government okwongera amaanyi mu kulwanyisa obwavu obumaamidde ebitundu ebyenjawulo.

Hajji Ediriisa Sseddunga, ssentebe waabazirwanako mu bubaka obumusomeddwa memba woolukiiko lwekibiina kyabalwanyi, Kiggundu Kabandwa, avumiridde ettemu, okusiiwuuka empisa mu basirikale, nénguzi ekudde ejjembe ensangi zino, kwe kusaba omukulembeze wéggwanga aleme kukyogerako bwogezi wabula aveeyo bukukuubira alwanyise nnamujinga ono.

Ku mikolo gino gye gimu abantu 49 baweereddwa emidaali ng’abazira ba Uganda, omuli nr minister omubeezi ow’amawulire ne technology Owek. Joyce Juliet Ssebugwawo.

Omudaali Owek. Ssebugwawo gwafunye gwegumu kwegyo egiweebwa bannabyabufuzi oba abantu ba bulijjo abakoze ebintu eby’enjawulo okukira ku balala naddala ebikulakulanya eggwanga Uganda.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • President Museveni ayisizza ekiragiro – eyali omulamuzi Augustine Nshiimye Sebuturo aziikibwe mu bitiibwa by’eggwanga
  • Abagoberezi ba Kristo mu Uganda batambuzza ekkubo ly’omusaalaba – nebavumirira ebikolwa eby’okutulugunya abantu mu ggwanga n’aabenyigira mu bikolwa ebyekko bekomeko
  • Olusirika lw’Abakulembeze mu Buganda luggaddwawo n’okuyisa ennyiingo 6 zebalina okugoberera mu nkola y’emirimu
  • Omutemu asanjaze abaana 4 abasanze ku ssomero e Ggaba – abatuuze bamukutte
  • Parliament eyisizza etteeka erikwata ku by’okukebera n’okutereka endagaluse ng’ababyetaaga balina kusooka kufuna lukusa – biri mu The Forensics And Scientific Analytical Services bill, 2025

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist