Obwakabaka bwa Buganda buwadde government amagezi ekendeeze ebbeeyi y’amasannyalaze, bannansi basobole okugafumbisa ,olwo okuttattana Obutondebwensi omuli okusaawa ebibira kukendeerere ddala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abadde yeetabye ku mukolo gwa Bulungibwansi ne government ez’ebitundu ku gombolola ya Mutuba etaano Nyenga mu Ssaza Kyaggwe, n’agamba nti government esaanye ebeere neenkanya ekimala, amasannyalaze amangi geerina egabunyise mu bannansi, ate galeme kuba gabuseere.
Agambye nti ekya government okubeera ng’egamba abantu nti bakome okutema emiti okwokya amanda, naye nga tebateereddeewo bintu birala byebasobola kukozesa okufumba ku bbeeyi eya wansi, tebeera nneenkanya, era n’ebiriruubirirwa by’okutaasa ebibira byandirema okutuukirizibwa.
Katikkiro era asabye abaami ba Ssaabasajja Kabaka okwongera amaanyi mu kwaagazisa abavubuka emirimu gy’Obwakabaka, omuli okunnyikiza Bulungibwansi n’Obuntu Bulamu mu baana abato.
Minister wa Bulungibwansi n’Ekikula ky’Abantu Owek Mariam Mayanja Nassejje, ategeezezza nti basobodde okukwanaganya abaami b’Amasaza mu kuggumiza Bulungibwansi n’Okuteeka emirimu egikolebwa ku mitimbagano, ekyoolese obujjumbize.
Minister wa government ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki asabye abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna, obuteekomoma mu buweereza bwa Ssaabasajja.
Omwaami wa Ssaabasajja akulembera essaza Kyaggwe Ssekiboobo Vincent Matovu Bintubizibu ayogedde ku bituukiddwaako mu kiseera kyeyaakamala mu buweereza , omuli okunnyikiza Bulungibwansi,okutumbula Okulima Emwaanyi mu Bavubuka n’ebirala.
Ku mukolo kuno kubaddeko okutongoza mayiro ya Bulungi bwansi e Wakissi Katale.
Abayizi b’amasomero bayimbye ennyimba ezikwata ku kukuuma obutonde bw’ensi, emigigi emito gisobole okugiganyulwamu, mu kifo ky’abakulu okubusanyaawo nga bekkusa bokka.
Mu ngeri yeemu wabaddewo ekyoto ekitabiddwamu abavubuka n’abaana abato, mwebabanguliddwa ku bintu ebyenjawulo, omuli enkola z’obuntu bulamu, okukola ennyo n’ebirala.
Omukolo guno gwetabiddwaako Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule, Minister webyamawulire, Okukunga era omwoogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, Owek Haji Hamis Kakomo, Owek Noah Kiyimba, Owek Nakate Chotildah Kikomeko, abaami b’Amasaza, ababaka mu Lukiiko lw’eggwanga Olukulu, Dr Matia Lwanga Bwanika, nabalala bangi.
Olunaku luno olwa Bulungi bwansi ne government ez’ebitundu lukuzibwa buli nga 08 October, okukubiriza abantu buli omu okubaako ky’akola ku lw’obulungi bwa Uganda.
Ensibuko y’olunaku luno eva ku lwa nga 08 October, 1962, Bungereza lweyaddiza Buganda Obwetwaze, ate enkeera nga 09 October, omwaka gwe gumu, ne Uganda eyawamu nekwasibwa amefuga gaayo.
Bisakiddwa: Kato Denis