Okukuza olunaku lw’okujjukira omugenzi Archbishop Janaan Luwumu olw’omulundi ogwa 47, emikolo emikulu gibadde ku kyalo gyeyazaalibwa era gyeyaziikibwa e Wigweng Mucwini mu district ye Kitgum.
Janaan Luwum eyaliko Ssabalabirizi w’e Kanisa ya Uganda yakulembera ekkanisa ya Uganda okuva mu 1974 okutuusa 1977 weyafiira.
Yamala emyaka 3 gyokka mu ntebe yóbwa Ssaabalabirizi.
Kigambibwa nti yafuna akabenje akamuviirako okufa, Wabula oluvannyuma abaali bamanyi eby’ensonga baagafulumya nti yattibwa buttibwa.
Kigambibwa nti eyali president wa Uganda mu biseera ebyo Ssalongo Iddi Amin Dada Oume yeyamutta nti ng’amuteebereza okuba nga yalina eby’okulwanyisa byeyali akukulidde, wadde ng’amagye bwegaayaza ennyumba ye tewali kyazuulwa.
Kigambibwa nti era yamulanga n’okuba nti Archibishop Luwumu yali asusse okwogera kwebyo ebyali bitatambula bulungi mu government nókulwanirira eddembe lyóbuntu.
Minister avunanyizibwa ku nsonga zomunda mu ggwanga mu government eriko eya NRM Gen Kahinda Otafire, asinzidde ku mikolo gy’okukuza olunaku lwa Janaan Luwumu olw’omulundi ogwe 47, nakkaatiriza nti okuttibwa kwa Janan Luwum tekaali kabenje wabula yali nteekateeka eyali egobereddwa obulungi kuba ebyaliwo byonna yabiraba bulungi.
Wabula wadde ebyo byonna bizze byogerwa kati emyaka 47 egyakayitawo, alipoota entongole ku kuttibwa kwa Ssaabalabirizi Janaan Luwumu tefulumizibwanga.
President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museven bwatisse Ssaabalamuzi wa Uganda Justice Alfonse Owinyi Dollo, asabye abatuuze mu bitundu by’obukiika kkono bwa Uganda, okukozesa ebyafaayo byeyali Ssaabalabirizi wa Uganda, Janan Jakaliya Luwum, okumalawo obutabanguko n’enkaayana mu bitundu ebyo.
President atenderezza obuvumu n’omwoyo gwokulwanirira eddembe ly’obuntu Ssaabalabirizi Janan Jakaliya Luwum, bweyalina mu kwogera ebisoomoza abantu baabulijjo, ebyamuviirako n’okuttibwa.
Ku lulwe, ssabalamuzi Owinyi Dollo, agambye nti bakwekwanyakwanya naabakulembeze b’ediini mu kkanisa ya Uganda, bagende mu bitundu bye West Nile, okwogereganya naabamu ku ba family ya Idid Amin Dada okutabagana, olw’okubattira omwana enzaalwa Ssabalabirizi Janan Luwum gwebenyumirizaamu olw’ebyamagero by’abakolera.
Ssabalamuzi Dollo agambye nti kano kajja kuba kabonero akanaamalawo obutakaanya wakati waaba Madi naaba Kakwa, okubaddewo okumala ekiseera.
Ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda, the most Rev Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, asinzidde ku mikolo gyonna, naasaba ministry y’eby’ensimbi, mu mwaka guno, okusasula ekkanisa ssente z’ebanja government ez’ettaka lye Makerere eryatwalibwa, olwo nabo basasule ebbanja ly’ekizimbe kya Church House eky’abbulwamu ssabalabirizi Janan Luwum.
Ssabalabirizi Kazimba era azeemu okuwanjagira ministry yeebyenjigiriza okuzaawo ettendekero lya St Lawrence Private Teachers College, ssabalabirizi Janan Luwum lyeyasomeramu era naasomesezaayo n’abaana, lyagambye nti okujibwawo kwalyo kyakonzibizza eby’enjigiriza mu kitundu.
Omulabirizi we Sebei, Rt. Rev. Paul Kiptoo Masaaba n’omulabirizi we Soroti, Rt Rev Kosea Odongo, bebakulembeddemu okubuulira n’okusabisa ku lunaku luno.
Bavumiridde enguzi esusse mu Uganda, nebasaba abantu okuba abavumu okukira ku ssabalabirizi Janan Luwum bweyalina mu kulwanirira ensi yaabwe.
Ssentebe wa district ye Kitgum, Arwai Christopher Obol, asinzidde ku mukolo guno naawanjagira abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okuba ekyokulabirako nga ssabalabirizi Janan Jakaliya Luwum bweyakola.
Omugenzi Janan Jakaliya Luwum yafuulibwa omujulizi owa 24 mu kkanisa ya Uganda, era ngono ajjukirwa nnyo nti ye munnadiini owekyasa kino eyafiirira eddiini era eyaviirako abajulizi ba Uganda okuwera 46 nga 22 bakatuliki nabakulisitaayo 24.
Ssabalabirizi Janan Jakaliya Luwum, yazaalibwa Eliya Okello ne Aireni Aciro mu 1924, e Mucwini, Chua mu Kitgum.
Yasomera Puranga mu district ye Kitgum ne ku Gulu High school naatendekebwa mu by’obusomesa ku ttendekero lya Canon Lawrence teachers college e Boroboro mu district ye Lira, okutuusa lweyayatula obulokozi naatandika obuweereza bw’ekkanisa nga 6 January, 1948.
Mu mwaka gwa 1949 yayimiriza ebyobusomesa, naagenda okusoma ebyediini ku Bishop Theological college e Buwalasi okutuusa lweyayawulibwa mu 1965, era naalondebwa okuba Ssabalabirizi wa Rwanda, Burundi ne Boga Zaire oluvanyuma lw’okuyita mu mitendera gyonna egyetaagisa ng’omuwereza mu kkanisa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis