Kamalabyonna wa Buganda Owek. yeebazizza bannamikago b’Obwakabaka olw’obuwagizi bwebawaddeyo mu nteekateeka y’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’omulundi ogwe 70.
Emisinde gino gigenda kubeerawo ku Sunday nga 06 April,2025 era nga gya mulundi gwa 12.
Gyonna gizze giteeka essira kukusitula eby’obulamu bw’abantu ba Ssemunywa, nga ku mulundi guno gisiimbye kukulwanyisa siriimu, ng’abaami bebakulembeddemu olutalo luno okutaasa omwana omuwala.
Waliwo abagenda okudduka kilomita 5, 10 ne 21.
Emisinde gyakusimbulwa mu Lubiri lwa Kabaka e Mengo.
Mu ngeri yeemu abntu abenjawulo bakedde kukola bulungi bwansi nga balongoosa mu Lubiri e Mengo, wakati mu kire ky’enkuba ekikedde okufudemba.