Obwakabaka bwa Buganda nga buli n’ekitongole ky’Obwanakyewa ekya Girls Not Brides, bongedde amaanyi mu kawefube w’okulwanyisa omuze gw’abaana okuwanguka mu masomero n’abawala abafumbizibwa nga tebanetuuka.
Okunoonyereza okwakoleddwa ababaka ba parliament mu kabondo akoogerera abaana, kwalaga nti abaana abawala ebitundu 34% okuwanduka kwabwe mu masomero kuva ku bazadde kubafumbiza.
Abalala bava mu masomero olwobutaba na byetaago, songa abalala okuwanduka kwabwe mu masomero kuva ku bazadde kulowooza nti okubaweerera kumala biseera nensonga endala nyingi.
Bwabadde aggalawo olutuula lwa parliament y’Abaana abawala olutudde mu Bulange e Mengo olutuumiddwa Buganda Children’s Parliament central region girl’s summit , Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng’akiikiriddwa minister w’Abavubuka ebyemizannyo n’ebitone Owek Robert Sserwanga asabye Abaana abasoma okulondoola banaabwe ekimala, n’Okufuba okumanya ebibasomooza babitegeeze ku basomesa, n’Okwewala okukozesa ebiragala.
Owek Sserwanga asabye abazadde mu Buganda okulwaana okukola ennyo bafune ebintu Omuva ensimbi, baweerere abaana baleme kwegomba, kyokka naasaba abayizi nabo okumanya obusobozi bw’Abazadde babwe.
Omubaka Omukyala akiikirira Namayingo era nga ye ssentebe w’Akakiiko ka parliament akalafuubanira Abaana nga ali wamu n’Omubaka we Ntwetwe Kyankwanzi Ssebikaali Joel, basabye abazadde okuddamu okutuuza abaana wansi bababuulirire.
Christopher Kirabe omuweereza mu kitongole ki Youth Advocacy and Development Network era nga yakulemberamu enteekateeka ya she leads, ategeezezza nti parliament y’Abaana etudde mu Buganda kabonero akalaga nti Omwana omuwala asaanye okukuumibwa butiribiri obutataagulwa Malindirizi, n’Okukuzibwa nga amanyi eddemberye ery’Obwebange.
Bisakiddwa: Kato Denis













