Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abayisiraamu okukozesa ekisiibo kino basimbe emiti ,okulwaanyisa enkyukakyuuka mu mbeera y’Obudde evuddeko ebbugumu okweyongera.
Abadde yeetabye ku mukolo Obwakabaka kwebusiibululidde abayisiraamu mu Bulange e Mengo.
Katikkiro agambye nti okulwanirira obutondebwensi kye kimu eky’oleka ekolwa eky’okuwa Allah ekitiibwa naasaba abayisiraamu okukola ekyetaagisa.
Katikkiro mungeri yeemu asabye okulwaanyisa okusasaana kwa Mukenenya kwongerweemu amaanyi, eggwanga likulaakulane.
Super supreme Mufti Sheikh Muhammad Ggalabuzi ,asabye abazadde okukuza Obulungi Abaana nga balimu ensa, kyokka naalabula Abaana abawala abasukkiridde okukema abaana abalenzi nebabasuula mu buzibu.
Omumyuuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Haji Ahmed Lwaasa era nga yabadde Ssentebe w’Enteekateeka, asabye abazadde obutasuulirira Baana balenzi nga bafa ku Bawala bokka, kyagambye nti kyandiviirako obutabanguko mu maka okweyongera.
Omwoogezi we Kibuli prof Dr Muhammad Kiggundu nga yakulembeddemu okubuulirira, asabye abaami okubeera ekyokulabirako mu kulwanyisa Mukenenya, nga bagabirira amaka gaabwe.
Ali Balunywa ku lwa Airtel Uganda abavujjirizi abakulu mu kusiibulula abayisiraamu, ategeezezza nti baakugenda mu maaso n’Enkolagana wakati waabwe n’Obwakabaka.
Omukolo guno gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wassajja, Omumyuuka asooka owa Katikkiro Owek Dr Haji Prof Twaha Kawaase Kigongo,ba minister mu Bwakabaka.
Ababaka ba parliament okuli Mubadde Muwanga Kivumbi Ssentebe w’akabondo k’Ababaka abava mu Buganda, Shamim Malende owa Kampala district, Abubaker Kawalya Owa Lubaga North ,Haji Latif Ssebaggala Ssengendo eyaliko omubaka wa Kawempe North ,nabalala bangi betabye ku mukolo guno.
Bisakiddwa: Kato Denis