Obwakabaka bwa Buganda buyisizza ebiteeso ku ngeri yÓkukwasizaako Abavubuka abÓmulembe guno, okufuuka abantu abensonga abasaanira mu nteekateeka ez’enjawulo era nga balina ensa mu buli kyebakola.
Olusirika luno lutambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Okusoosowaza abavubuka n’okussa mu nkola enteekateeka z’Obwakabaka”.
Ebiteeso ebiyisiddwa bisomeddwa ssentebe wÓlukiiko lwa Nnamutayiika wÓbwakabaka, Omumyuuka asooka owa katikkiro Owek Dr Hajji Prof Twaha Kawaase Kigongo.
Mubaddemu;
-Okutendeka Abavubuka ku nsonga zÓbwakabaka mu buli ntekateeka yonna ekolebwa mu Buganda, okuviira ddala mu Maka.
-Okutondawo Ebyooto eby’Abakugu ebituumiddwa “Magezi Muliro”
-Enteekateeka engenderere eyÓkulera abavubuka , batuuke ku mutendera gwÓkukulira ebitongole byÓbwakabaka byonna.
-Okutumbula ekitone kyÓkuzina Amazina Amaganda mu Buganda, nga kino kiri wansi wÓkutumbula Obumu.
-Okutandikawo Buganda Youth Environment Network, egenda okukuuma Obutondebwensi.
-Enkola eyÓkubunyisa kaweefube wÓkwawula Kasasiro avunda nÁtavunda.
-Okubunyisa enkola ya tekinologiya mu Bavubuka bÓmulembe Omutebi.
-Okwagazisa abavubuka mu Bwakabaka bayingire ebitongole byÓkwerinda babugirize Namulondo.
-Okutegekawo empaka za Ba sserurungi bÓbwakabaka nékigendererwa ekyokutumbula empisa mu baana Abalenzi, nÓkumanya abalenzi webayimiridde ku nsonga za Buganda, Uganda Africa nÉnsi yonna.
Ebiteeso bino biyisiddwa mu lusirika lw’abakulira emirimu egy’enjawulo mu Buganda olumaze ennaku 2, nga lubumbujjira ku Muteesa I Royal University e Kakeeka Mengo.
Bwabadde aggalawo Olusirika luno, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Okusoosowaza Abavubuka mu Bwakabaka kye kimu ku bigenda okuzza Buganda ku ntikko, naasaba abakulembeze babakwasizeeko.
Katikkiro asabye abakutte ku bavubuka babakolemu Omulimu oguweesa Obwakabaka ekitiibwa, nga babeewaza Obulyaake, okukola ennyo nga beerufu, nÓkwagala ennyo Kabaka waabwe.
Mu nteekateeka eno, ba minister b’Obwakabaka n’abakugu abalala balambise abakulira emirimu egyenjawulo, ebirina okusoosowazibwa mu kuziimba abavubuka ab’ensa era abajjudde, mu by’obulamu, ebyenjigiriza, eby’emirimu, obukulembeze, obutonde bw’ensi, empisa, eby’obulimi, obuyonjo, okuteekateeka amaka technologia n’ebirala.
Minister wÉbyobuwangwa Ennono, Embiri n’ebyokwerinda mu Bwakabaka Owek Dr Anthony Wamala, alaze obwetaavu bwÓkwagazisa abavubuka mu Bwakabaka okuyingira ebitongole byÓbweegassi, kiyambe Obwakabaka okubeera nÁbaweereza abaabwo ate nga batendekeddwa bulungi.
Minister wÉbyobulimi , Obuvubi nÓbweegassi Owek Hajji Amiisi Kakomo ategeezezza nti Obwakabaka bwakwongera amaanyi mu kutumbula Obweegassi, nga ku mulundi guno busazeewo okukwatagana neezimu ku Banka engundiivu.
Olusirika luno lwetabiddwaamu Bajjajja Abataka abakulu bÓbusolya, Ba minister bÓbwakabaka, Abaami bÁmasaza ne Ba Ssenkulu n’abakulira zi bboodi zÉbitongole mu Bwakabaka.
Bisakiddwa: Kato Denis