Obwakabaka bwa Buganda buyimirizaa mbagirawo emirimu gyonna egibadde gikolebwa ku lusozi Matugga Kitto olusangibwa mu ggombolola Ssaabawaali Matugga olutuddeko ebyafaayo ebyenkizo ebikwata ku Buganda.
Ekiwandiiko ekiyimiriza byonna kisomeddwa Jajja w’Olulyo Olulangira Omulangira Ssalongo Luwangula Basajjansolo ng’asinzira e Matugga.
Alabudde abantu okukomya okwesenza, okwonoona n’okwasa amayinja agasangibwa ku lusozi luno.
Omulangira Luwangula awaddeko kkopi abakulembeze mu kitundu ng’abalambika obutakolagana na muntu yenna eyesenza ku ttaka ly’Obwakabaka oba okuli ebifo eby’ennono n’obuwangwa n’ebyafaayo ebimanyiddwa, nga anakikola wakuvumanibwa.
Kabaka yasiima ettaka lye okuddukanyizibwa ekitongoole ki Buganda Land Board era yokka yevunaanyizibwa, okuwa omuntu yenna olukusa okulikolerako, okupangisa oba okubeerako.
Nalwanga Rose Omumyuka wa womwaami we Ggombolora Ssaabawaali Matugga asanyukidde entekateeka Eno nti yakumalawo banakigwanyizi abasatukira ku bintu by’Obwakabaka.
Mu kaweefube w’okutaasa, okununula, okukuuma n’okukulakulaanya ebifo by’obuwangwa n’ennono, Obwakabaka bulambula ebifo binno eby’enjawulo okwongera okwekaanya ebikolebwako.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius