Obwakabaka bwa Buganda butendereeza emirimu gy`omugenzi Dr.Jack Luyombya, egy’okuweereza Buganda ne Uganda yonna.
Mu bubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, obusomeddwa omukubiriza w`okukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule, mu kusabira Omugenzi Jack Luyombya mu lutikko e Namirembe, Katikkiro ayogedde ku mugenzi ng’abadde omusajja omukozi ennyo, alina omwoyo gwa Buganda, ate omwerufu mu byakola, era obuwereeza bwe bunajukirwanga.
Mu bubaka bwa president Museven obwetikiddwa Hajji Moses Kigongo omumyuka asooka owa ssentebe wa NRM, naye amwogeddeko ng`abadde omusajja omukozi ennyo era eyakola ekyamanyi mu kuyambako okuleeta government ya NRM mu buyinza
Omuttaka Nakirembeka owekika ky`omutima Omusagi Engineer Allan Waliggo, agambye nti Omugenzi yali omu ku bantu abalwana olutalo olwaleeta government ya NRM mu buyinza, naye ekyennaku afudde government tenatuukiriiza kisubiizo kyayo eky`okuddiza obwakabaka ebyabwo byonna ate nga ye kyekyamutwala munsiko.
Bishop Dr George Ssenabulya omulabirizi wa Central Buganda eyawummula, akulembeddemu okusabira Omugenzi, amwogeddeko ng`omusajja abadde eky`okulabirako ekirungi eri abantu abalala.
Katende Godfrey, Omuttaka Natigo Katikkiro w’ekika Ky`olugave, ekika Omugenzi Kyabadde avaamu, ayogedde ku mugenzi ng`abadde omusajja empagi Luwaga eri ekika kyabwe.
Muwala w`Omugenzi Merry Lillian Nabunya nga yayogedde ku lwa family, agambye nti kitaabwe afudde tebalina kyebamunja, kubanga bonna alese abateeseteese era ng’abaweeredde n`okutikirwa nebatikirwa.
Jack Luyombya abadde mubaka mu lukiiko lwa Buganda, era afiridde ku myaka 81.
Jack Luyombya yoomu ku bantu abetaba mu lutalo olwaleeta government ya NRM mu buyinza.
Jack Luyombya azze akyogera lunye nti ekyamutwala mu nsiko kwali kulwana okuzaawo Obwakabaka bwa Buganda obwali bwawerebwa government ya Milton Obote, n’okuzzaawo enfuga etaambulira ku mateeka.
Dr.Jack Mukiibi Ssengero Luyombya abadde musawo omukugu era nga yaliko ssentebe w’olukiiko oluddukanya eddwaliro ekkulu e Mulago.
Dr.Luyombya yalekulira obukulu obwo nga yemulugunya olwa sente ento ezaali zissibwa mu ddwaliro eryo, so nga ly’eddwaliro ly’eggwanga ekkulu.
Bisakiddwa: Musisi John