Omukago ogutaba ebitongole by’obwanakyewa ebitakabanira enkozesa y’enguudo ennungi ogwa Road Safety Advocacy Coalition Uganda, gwagala government eddemu yeetegereze obukugu obukozesebwa mu kuzimba enguudo, enkola y’emirimu gya police mu kukwasisa amateeka, n’obukugu bwabanonyereza ku bubenje nti byaliba nga byebimu ku bikyasibye obubenje okweyongera mu ggwanga.
Obubenje obusoba mu 4 bwebwaguddewo ku lunaku lumu olwa 13 August,2023 Abantu abasoba mu 10 bebabufiiriddemu, so nga n’abawerako basigadde bakutuse amagulu n’emikono, wamu n’obuvune obulala obwenjawulo.
Kinajjukirwa nti government gyebuvuddeko okuyita mu minister w’ebyamawulire Dr. Chris Baryomunsi, yalangirira nti baakuggula emisango gy’obutemu, ku bagoba b’emmotoka ezikola obubenje obuviirako abalala okufa, ng’emu ku nkola ez’okukendeeza obubenje mu ggwanga.
Mungeri yeemu , government yalangiridde nti yaakuzaawo enkola eya kawunyemu okukwatirako abavuga ebidduka nga bagangayidde, okwewala obubenje ku makubo, newankubadde enkola eno nayo yali yagyibwamu mu kiseera kya Covid 19 olwokutya okusasanya obulwadde.
Suzan Tumuhairwe, okuva mu kitongole kya Safeway – Right way, ne Sam Bambanza okuva mu kitongole kya Hope for Victims of Traffic Accidents, bagamba nti kyenyamiza okulaba nti newankubade okumanyisa abantu, kukoleddwa ku nkozesa y’enguudo, abagoba beebidduka bakyakola ensobi ezekyeyononero eziviirako abakozesa enguudo okufa.
Alipoota ya police ey’omwaka 2021 ku bubenje ku makubo, yalaga nti abantu 1,290 bebaafiira mu bubenje bwa Boda-boda ssongomuwendo guno mu 2022 gweyongera okutuuka kubantu 1,404 newankubadde ng’obubenje obusinga bwabadde busobola okwewalibwa.
Mungeri yeemu Fred Nkuruho Tumwine, ssentebe w’omukago gwa ROSACU, ne Richard Baguma, omwogezi woomukago, baagala government ezeewo etteeka ery’okuvuga emisinde ejitasukka kiro meter 30 buli saawa, naddala mu bitundu ewali amasomero, amalwaliro, amasinzizo, obutale nebifo ebirala ebikungaanya abantu abangi.
Bannakyewa basazeewo okutandika okuwandiika n’okukunganya ebikwata ku bubenje obwenjawulo nekibuleeta, okutekawo amateeka n’obusobozi bw’okuddusa abantu mu malwaliro nga Ambulance ezirimu ebikozesebwa, amalwaliro ku nguudo zi mwasa njala, nokuteeka abakugu abayambako mu kuduukirira obubenje ku makubo.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis