Minister avunaanyizibwa ku by’okwerinda mu ggwanga Jacob Oboth Oboth, ne Ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka, baasanze akaseera akazibu okumatiza ababaka ku bukiiko bubiri okuli ak’amateeka naakavunaanyizibwa ku byokwerinda, obutandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erirambika eggye ly’eggwanga, erya The Uganda People’s Defense Force (amendment) bill 2025.
Minister w’eby’okwerinda Jocob Markson Oboth, yayanjulidde Parliament ennoongosereza mu tteeka lino nerisindikibwa mu bukiiko okuli aka Defence and Internal affair, saako ak’amateeka.
Abakulu okuva mu ministry ye by’okwerinda nga bakulembeddwamu Minister Jacob Oboth Oboth ne SsaAbawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka, balambise obuwaayiro obwanokoddwayo mu bbago lino.
Okusinziira ku SsaAbawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka, ebbago lino ligendereddwamu okutondawo kkooti y’amagye eyetengeredde, okulambulula obuvunaanyizibwa bwa kooti y’amagye, okugereka obuyigirize n’obukugu bw’omuntu agwanidde okubeera omulamuzi wakooti eno.
Mungeri yeemu ebbago lino litunulidde ba memba abalina okubeera ku lukiiko lwa kooti y’amagye, n’obuyigirize bwabwe kko nebbanga lyebalina okumalako, n;okutondawo akakiiko akakwasisa empisa, abalamuzi ba kooti yamagye ng’era abalamuzi bonna bakukuba ebirayiro ebibakkiriza okugoberera amateeka g’eggwanga.
Ebbago lino mubuufu bwebumu litunulidde ku mbeera eyinza okuleetera omuntu wabulijjo okuwozesebwa mu kooti y’amagye, nga bano baagala omuntu yenna anaasangibwa ng’akozesa oba ngalina ebyokulwanyisa ebimanyiddwa nga by’amagye, eby’ambalo ebyefananyiriza okuba eby’amagye ng’engatto, azizza emisango gya naggomola ng’okutta, okulya munsi olukwe nebirala .
Minister webyokwerinda muggwanga Jacob Oboth Oboth, agezezaako okukakasa ababaka abatuula kukakiiko kano, ng’ebbago lino bweritalina kigendererwa kyonna kyakunyigiriza Muntu wabulijjo.
Wano ababaka okubadde Commissioner Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, Nabboth Namanya Omubaka wa Rubabo constituency, ne Abdallah Kiwanuka Omubaka wa Mukono North, bawakanyizza obumu kubuwayiro obusomeddwa mu bbago lino, nga bagamba nti ennoongosereza zino bwezinayisibwa, zakunyigiriza nnyo bannauganda naddala abantu babulijjo, nga n’ebannabyabufuzi abamu bandikozesa etteeka lino nebatulugunya bannauganda.
Wabula wadde guli gutyo bbo ababaka abalala okuli Brandon Kintu Omubaka wa Kagoma North, Omubaka wa Soi county, Chemaswet Abdi Fadhil, nabalara bawagidde enongosereza zino, nga bagamba zaakuyambako nnyo okumalawo obumenyi bw’amateeka obwekuusa ku mmundu mu ggwanga.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith