Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu Radio CBS buwaddeyo ensimbi obukadde bwa shs 206,325,000/= eri abaddukanya eddwaliro ly’e Nkozi nga zino zeezaava mu kyeggulo kya Kaliisoliiso eky’omwaka guno zikozesebwe okuzimba ekifo awanajjanjabiranga abagudde ku bubenje.
Katikkiro Charles Peter Mayiga y’akwasizza ab’eddwaliro ly’e Nkozi Cceke nga bakulembeddwamu Vicar General w’essaza ekkulu erya Kampala Msgr. Charles Kasibante abaddewo ku lwa Ssaabasumba Paul Ssemogerere.
Katikkiro yeebazizza nnyo Eklezia Katulika olw’obutafa ku bya mwoyo gwokka n’etunuulira n’ensonga endala ezigasiza awamu abantu, naddala okusoosowaza eby’obulamu ng’ezimba amalwaliro wonna okuwa abantu ba Katonda eby’omwoyo n’obujjanjabi.
Kamalabyonna yeebazizza nnyo abaddukanya CBS n’abaweereza ba Program Kaliisoliiso olw’obuyiiya obwabatuusa okutandika ekintu kino ekivuddemu omulimu ogunajjukirwa emirembe n’emirembe.
Ssentebe w’enteekateeka z’ekyeggulo kya Kaliisoliiso era omumyuka owookubiri owa Katikkiro munna Rotary Owek Robert Waggwa Nsibirwa agambye nti ku mulundi guno, waabaddewo okweyongera mu bujjumbize nga kyalabikidde ku nsimbi ezaaweereddwayo nga zaasinze ku z’omwaka koguwedde n’ebitundu 16% bwatyo neyeebaza nnyo abaayambye mu nsonga eno.
Owek. Nsibirwa agambye nti kino kiraga nti abantu ba Kabaka baategeera bulungi Ssemasonga ey’okuna ey’okukola obutaweera n’eyokutaano ey’okunyweza obumu.
Omumyuka wa Ssentebe wa Bboodi ya CBS Omuk David Baalaaka ku lwa CBS yeeyamye nti Radio ya Kabaka tejja kussa mukono okutuusa nga ekyatandikwa kigguse kubanga kino kisimbira ddala mu miramwa egyatandisaawo Radio CBS.
Ategeezezza nti ensimbi eziweereddwayo zeyongeddeko obungi okiva ku bukadde 173 ezaasondebwa mu 2023 okulinnya ku bukadde 206 ez’omwaka 2024.
Msgr. Charles Kasibante ku lwa Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja olwa Radio CBS olw’enkolagana ennungi n’Eklezia Katulika mu kuweereza abantu ba Katonda.
Msgr. Kasibante agambye nti amalwaliro ga Eklezia tegasosola muntu yenna era buli agendayo aweebwa obujjanjabi awatali kutunuulira ddiini, oba ekintu ekirala kyonna.
Yeebazizza nnyo olw’obuyambi buno n’ategeeza nti kino kibayambye nnyoo okubasitulirako kubanga obuyambi Eklezia bwebadde efuna okuva mu mawanga amalala bwakendeera.
Bannamikago okuli aba Centenary Bank, I&M ne banna Rotary beesowolayo bukuukuubira okukwasizaako CBS ku mulimu guno okutuusa nga guwedde.
Ku lwa bannamikago bano, ssenkulu wa Centenary Bank Omuk. Fabian Kasi agambye nti baakuwaayo ensimbi okudduukirira omulimu guno okutuusa nga gutuuse weguteekeddwa okubeera.
Omuk. Kasi agambye nti baakiraba nga bateekeddwa okwegatta ku nteekateeka eno kubanga beetaaga abantu abalamu okutereka mu Bank.
Aba Rotary mu nteekateeka eno beeyama okussa ebyuma byonna mu ddwaliro lino okuyamba okujjanjaba abantu abagwa ku bubenje naddala ku luguudo lw’e Masaka olugambibwa nti lwerumu ku nguudo okusinga okugwa obubenje.
Abaweereza ba Program Kaliisoliiso okuli Hajji Abbey Mukiibi, Hajji Abu Kawenja, Peace Diane Baagala ne Rajab Kanaakulya bebasaale mu kyeggulo kino nga guno gwemulundi ogw’okusatu ng’ensimbi eziva mu kyeggulo kya Kaliisoliiso ziweebwayo ku mulimu gw’eddwaliro ly’e Nkozi.
Kirangiriddwa nti Ekyeggulo kya Kaliisoliiso eky’omwaka ogujja 2025 kinaabaawo nga 3 October mu Hotel Africana.
Omukolo guno oguyindidde mu Bulange e Mengo gwetabiddwako Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe, Omuk. Robert Kasozi avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu ku CBS, munnamateeka wa CBS Vivian Namale, banna Rotary n’abalala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K