Olusirika lw’abakulembeze b’Obwakabaka bwa Buganda, luwezezza olunaku olwokubiri, Minister w’ebyobulimi, Ebyobusuubuzi, obwegassi n’obutale Owek Hajji Hamiss Kakomo mwayanjulidde enteekateeka gyebagenda okugoberera okusoosowaza abavubuka.
Owek.Kakomo agambye nti bakola n’amaanyi okwagazisa abavubuka nti obugagga buli mu bulimi n’okukolera awamu mu bwegassi.
Olusirika luno lutambulira ku mulamwa ogugamba nti Okusoosowaza abavubuka n’okussa mu nkola enteekateeka z’Obwakabaka.
Luyiindira ku Muteesa I Royal University e Kakeeka Mengo.
Owek.Kakomo agambye nti abavubuka babasomesa ku nnima ey’omulembe ey’okukozesa ebyuma, era ereeta amagoba.
Enkozesa y’amasannyalaze agava mu kasasiro aga Biogas abavubuka bagettanidde, galimu okubawa emirimu n’okutaasa obutonde bw’ensi.
Agambye nti waliwo abavubuka abanoonya obugagga obw’amangu, nti era singa omuntu abeera yewaddeyo era nakola ebisaanye asobola okugaggawalira mu bulimi.