Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya National Unity Platform NUP kaggaddewo omulimu gw’okukwata empapula z’abegwanyiza ebifo ebyenjawulo mu kibiina, oluvanyuma,lwokubakubamu omukka ogubalagala olwaleero nga bakyaakola omulimu
Okusinziira ku bakulira akakiiko ke byokulonda mu kibiina kino bagamba nti wadde nga balangirira nti leero lwebakomekereza enteekateeka eno nti naye etataganyizidwa ebebyokwerinda.
Ssentebe w’akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya NUP Jane Chemtai ategezeza nti emirimu gyabwe tejikomekerezeddwa mu mirembe, era bagenda kutuula balabe kyebayiinza okukolera abantu babwe abalemeseddwa okuzza empapula zabwe olw’embeera ebaddewo.
Omukka ogubalagala gumyoose nga police egumbulula banna kibiina kya NUP abeeyiye ku kitebe kino e Kavule mu Kampala mu bungi, nga bawerekedde abantu babwe bebawagira.

Embeera ebadde ya bunkenke ku kitebe kino era nga abangu bataddeko kakokola tondeka nnyuma okwetegula ekibambulira.
Amagye ne police bikyagumbye okumpi n’ekitebe ky’ekibiina kino.










