• Latest
  • Trending
  • All
NUP baguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gya bukadde 15 – Katikkiro Mayiga alabudde bannabyabufuzi ku siriimu asaasaanira mu nkuηηaana z’ebyobufuzi

NUP baguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gya bukadde 15 – Katikkiro Mayiga alabudde bannabyabufuzi ku siriimu asaasaanira mu nkuηηaana z’ebyobufuzi

April 2, 2025
Ministry y’ebyamateeka mu Uganda yetaaga obukadde bwa shs 115 okusomesa abakozi baayo enkozesa y’obupiira balwanyise mukenenya

Ministry y’ebyamateeka mu Uganda yetaaga obukadde bwa shs 115 okusomesa abakozi baayo enkozesa y’obupiira balwanyise mukenenya

April 9, 2025
Abawagizi ba Arsenal babinuka – ekubye Real Madrid 3 -0 mu za UEFA Champions League

Abawagizi ba Arsenal babinuka – ekubye Real Madrid 3 -0 mu za UEFA Champions League

April 9, 2025
Auto Draft

Government ya Uganda ekoze ennoongosereza mu tteeka erifuga kooti y’amagye – yakuddamu okuwozesa abantu ba bulijjo

April 8, 2025
Abalunnyanja beraliikiridde olw’enkoonge eyitibwa Mubiru – bagamba nti etandise okutta ebyennyanja

Abalunnyanja beraliikiridde olw’enkoonge eyitibwa Mubiru – bagamba nti etandise okutta ebyennyanja

April 8, 2025

Al Qasimia University mu UAE yeyamye okuyambako agamu ku masomero g’obusiraamu mu Uganda

April 8, 2025
Abalunnyanja beraliikiridde olw’enkoonge eyitibwa Mubiru – bagamba nti etandise okutta ebyennyanja

Abakulembeze b’e Wakiso batabuse ku ky’okugabira abasigansimbi ekibira kye Ggunda

April 8, 2025

Eddwaliro Muteesa II Busimbi ligguddwawo Nnaalinnya Kagere – ng’ekirabo ky’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi ag’e 70

April 8, 2025
DP emalirizza okulonda abakulembeze ku byalo – bannakibiina abamu bemulugunya

DP emalirizza okulonda abakulembeze ku byalo – bannakibiina abamu bemulugunya

April 8, 2025
Abeepisikoopi mu Uganda bafulumizza ekiwandiiko kya miko 39 – balambise ebirina okukolebwa okutereeza eggwanga

Abeepisikoopi mu Uganda bafulumizza ekiwandiiko kya miko 39 – balambise ebirina okukolebwa okutereeza eggwanga

April 8, 2025
Abakungubazi basse omusirikale wa police olw’omuntu wabwe eyafiiridde mu kkomera e Ibanda

Abakungubazi basse omusirikale wa police olw’omuntu wabwe eyafiiridde mu kkomera e Ibanda

April 7, 2025

Ow’emyaka 3 afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba e Kibiri Busaabala

April 7, 2025
Ponsiano Lwakataka Mafu Mafu awangudde eza Masaka Rally Championship – awera kutwala ngule ya NRC 2025

Ponsiano Lwakataka Mafu Mafu awangudde eza Masaka Rally Championship – awera kutwala ngule ya NRC 2025

April 7, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

NUP baguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gya bukadde 15 – Katikkiro Mayiga alabudde bannabyabufuzi ku siriimu asaasaanira mu nkuηηaana z’ebyobufuzi

by Namubiru Juliet
April 2, 2025
in BUGANDA
0 0
0
NUP baguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gya bukadde 15 – Katikkiro Mayiga alabudde bannabyabufuzi ku siriimu asaasaanira mu nkuηηaana z’ebyobufuzi
0
SHARES
65
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde bannabyabufuzi ku kabaate k’okusaasaana kwa Mukenenya mu nkuηηaana  z’Ebyobufuzi ,naasaba abakulembeze okufuba okulambika abawagizi baabwe ku okulwaanyisa Mukenenya mu nkambi z’Ebyobufuzi mwebabeera.

Abadde asisinkanye Banna kibiina ki National Unity Platform, abaguze emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa g’Empalabwa gya Bukadde bwa shs 15 ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.

Katikkiro abalabudde nti ssinga bannabyabufuzi tebakoma ku bawagizi baabwe abatambulira mu masanyu,siriimu tebagenda kumuwona.

Katikkiro avumiridde ebikolwa eby’effujjo ebyeyolekera mu Kalulu k’okuddamu okulonda omubaka wa Kawempe North, ebyaleka ng’abamu balemadde, kyokka neyeebaza bonna abavuddeyo nebavumirira ebikolwa ebyo.

Amyuka President wa National Unity Platform mu Buganda era Omubaka wa Butambala mu parliament Muhammad Muwanga Kivumbi, asabye nti Emisinde gy’Amazaalibwa g’Empalabwa gifuuke ekitundu ku by’Obulambuzi mu Bwakabaka,kuba gikungaanya enkumi n’Enkumi z’Abantu okuva mu buli nsonda ya nsi.

Akulira Oludda oluwabula government mu parliament Joel Ssenyonyi, yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’omulamwa gw’okulwanyisa Mukenenya ogwesigamiziddwako emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka.

Mu ngeri yeemu Ssenyonyi yennyamidde olwa government eyawakati okulagajjalira Abasawo n’Ebyobulamu mu ggwanga.

Omubaka wa Kawempe North mu Lukiiko lw’eggwanga Olukulu Erias Luyimbaazi Nalukoola n’owa Lubaga North Abubaker Kawalya, bakukkulumidde abakungu ba government ababulankanya  ebikozesebwa mu bujjanjabi, nebabasaba  balabire ku Bwakabaka.

Owek Haji Dr. Prof Twaha Kawaase Kigongo

Ebyo nga bikyali awo ssentebe w’Olukiiko lw’Amazaalibwa ga Kabaka era Omumyuuka asooka owa Katikkiro Owek Haji Dr. Prof Twaha Kawaase Kigongo, asinzidde mu nsisinkano n’Abebyokwerinda mu Lubiri e Mengo, naasaba abaneetaba mu Misinde obutagezaako kukola bikontana na Misinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka.

Agambye abateekateeka okujja n’ebipande b’ebyobufuzi bekomeko, babirekeyo ewaabwe.

Amyuuka omwogezi wa police mu Kampala nÉmirirwaano Luke Oweyisigire asabye abagenda okujja mu misinde nÉbibinja byÁbo abeeyita abakuumi obutakikola, kuba kyakutataaganya eddembe lyÁbaddusi ba Kabaka.

Ettendekero lyÁbasawo erya International Paramedical and Nursing Schools Maya liguze emijoozi gya bukadde bubiri, nga emijoozi gibakwaasiddwa minister wÁmawulire okukunga era omwoogezi wÓbwakabaka oowekIsreal Kazibwe kitooke.

Akulira ebyenjigiriza ku Ttendekero International Paramedical and Nursing Schools Maya Joseph Kiwu, aweze nti bakwongera okubangula abasawo abali ku mulembe wamu nokujjanjaba abantu ba ssabasajja kabaka okuyita mu nsiisira z’ebyobulamu.

Amyuka omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro Vicent Kayongo y’ebazizanyo eteendekero lino okwenyigira mu nteekateeka zonna ezobwa Kabaka naddala webituka munsisira z’ebyobulamu.

Mu kusooka kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga yasisinkanye ekibiina ekigatta kampuni za Yinsuwa mu ggwanga  ki Uganda insurers Association ekiguze emijoozi gya bukadde bwa Uganda butaano, nga bano bakulembeddwamu ssentebe waabwe Ruth Namuli, eyeeyamye okukolagana nÓbwakabaka okubunyisa empeereza ya Yinsuwa.

Mungeri yeemu kitongole kyÓbwakabaka ekyÉbyobulambuzi ki Buganda Tourism and Heritage Board nga kikulembeddwaamu Ssenkulu waakyo Najib Nsubuga kiguze emijoozi 100 okusobozesa abaweereza okweetaba mu misinde, ono abasabye okweewala Mukenenya.

Buganda Royal institute of Technical and business studies nabo baguze emijoozi gya bukadde bwa shs 20.

Bisakiddwa: Kato Denis ne Nakato Janefer

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ministry y’ebyamateeka mu Uganda yetaaga obukadde bwa shs 115 okusomesa abakozi baayo enkozesa y’obupiira balwanyise mukenenya
  • Abawagizi ba Arsenal babinuka – ekubye Real Madrid 3 -0 mu za UEFA Champions League
  • Government ya Uganda ekoze ennoongosereza mu tteeka erifuga kooti y’amagye – yakuddamu okuwozesa abantu ba bulijjo
  • Abalunnyanja beraliikiridde olw’enkoonge eyitibwa Mubiru – bagamba nti etandise okutta ebyennyanja
  • Al Qasimia University mu UAE yeyamye okuyambako agamu ku masomero g’obusiraamu mu Uganda

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -