Ekibiina ki National Resistance Movement kitongozza enkola mwekinaayita okukuyega abalonzi okumitendera egyenjawulo, wakati mukwetegekera okulonda kwa bonna okwa 2026.
Bw’abadde atongoza enkola eno etuumiddwa NRM Parish Based Grassroot Mobilization, omumyuka wa ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM, Rose Namayanja agambye nti bagenda kusomesa abakulembeze mu kibiina okuviira ddala ku mutendera gwa district okutuuka ku kyalo, ku ngeri y’okumperereza abalonzi okulonda Yoweri Kaguta Museveni ku kifo kyomukulembeze we ggwanga nebannakibiina abalina kaadi abeesimbyewo ku bifo ebyenjawulo.
Namayanja agambye nti mu nkola eno bagenda kussa essira ku kuwenja akalulu muntu ku muntu, nju ku nju, , kyalo ku kyalo okulaba ng’ekibiina kifuna obuwanguzi obw’amaanyi.
Ssaabakunzi wa NRM Dr. Rosemary Nansubuga Sseninde, asabye abavubuka ne banna Uganda bonna okukola kampeyini ez’emirembe era nabawa amagezi okwewala okusoomooza ab’ebyokwerinda.
Omuwanika w’ekibiina kya NRM, Ambassador Barbra Nekesa annyonyodde nti enkola ya Parish Based Grassroot Mobilization, egenda okubayamba okusaba akalulu, n’okukakuuma, okutuusa ng’okulonda kuwedde.
Bisakiddwa: Betty Zziwa













