Nannyini mmotoka eyakola akabenje ddekabusa omwafiira abantu, avunaaniddwa gwakulemererwa kuleeta dereeva eyali avuga mmotoka ye.
Mukasa Godfrey nannyini mmotoka asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka atuula eMpigi Fatuma Nabirye, n’asomerwa omusango gw’okulemererwa okuleeta dereeva eyali avuga mmotoka ye namba UBM 489B eyakola akabenje nga 26 December, 2022.
Omusango agukkirizza era n’aweebwa ekibonerezo kyakusibwa emyezi mukaaga oba okuwa omutango gwamitwalo 300,000/=.
Akkiriza okusasula omutango ogwa shs 300,000/= oluvannyuma naayimbulwa.
Bisakiddwa: Yoweri Musisi