Nnaalinya Lubuga Agnes Nabaloga
Lubowa-Kyaddondo
4-02-2025
Eri; Ab’enju ya Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe Ngobe e Kasawo-Kyaggwe.
OBUBAKA OBW’OKUSAASIRA;
Banaffe,
Mu bulumi n’ennaku ennyingi, tuwulidde amawulire ag’okuseerera kwa Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe Ngobe, kitalo nnyo!
Tusaasidde nnyo Nnamwandu Omuzaana Namutebi Nora, bamulekwa, ba Nnaava ne ba Ssaava wamu n’abenganda bonna olw’okuviibwako Ssaabalangira abadde empagi luwaga mu Mutuba gwa Ngobe.
Mu ngeri yeemu ntuusa okusaasira kwange eri Olulyo Olulangira olw’okuseerera kwa Ssaabalangira Musanje. Ssaabalangira tujja kumujjukira nnyo olw’okwagala ennyo Ssaabasajja Kabaka, Olulyo Olulangira n’Obwakabaka, n’olwengeri gyabadde aweereza Ssaabasajja n’Obuganda n’okwagala okungi ennyo.
Kyakusaalirwa kungi nti tetusobodde kubegattako mu mbeera eno, tuuli bweru wa ggwanga.
Twebaza Katonda olw’obulamubwe n’emirimu gyamukozesezza.
Tusabiragane Mukama atusibe ekimyu okugumira ebizibu bino n’omwoyo gwa Ssaabalangira eyaseeredde aguwe ekiwummulo eky’emirembe.
Gusinze Ayi Beene!
Agnes Nabaloga
Nnaalinya Lubuga.












