Nnaabagereka Sylvia Naginda atongozza ekisaakaate Gatonnya 2025, ekigenda okubumbujjira ku somero lya St.Janaan School Bombo Kalule.
Ekisaakaate kino kya mulundi gwa 18, era nga kigenda kutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Okukwanaganya Obuwangwa bwaffe ne Tekinologiya”.
Nnaabagereka agambye nti basazeewo okulonda omulamwa guno, olw’aavubuka abakozesa obubi technologiya w’ebyempuliziganya okuvvoola abalala, so ng`ate basobola okumweyambisa okwekulakulanya n`okunyweza obuwangwa bwabwe.
Nnaabagereka era afalaasidde abazadde okufuba okukuliza abaana babwe mu nnimi enzaaliranwa
Nnaabagereeka era yebazizza essomero lya Homisdallane eryategeka ekisaakaate kya 2024, wamu ne Somero lya Janan School Bombo Kalule erigenda okutegeka eky`Omwaka ogujja 2025.
Minister webyenjigiriza, eby`obulamu era avunanyizibwa ku office ya Nnaabagereka Owek Cotlida Nakate Kikomeko, agambye nti ekisaakaate okuva lwekyatandikibwa kyafuuka empagi sseddugge mu kuteekateeka abaana b’eggwanga.
Ssenkulu wa MTN Uganda Sylvia Mulinge, agambye nti ekisaakaate Kya Nnaabagereka kigasse etoffaali ly’amaanyi mu nkuza ne nnambika y`omwana wa Uganda.
Ssenkulu wa Nnaabagereeka Development foundation Omukungu Andrew Adrian Mukiibi, agambye nti ekisaakaate ky`omulundi guno kyongeddwamu ebinonogo, omuli okuggulawo omutimbagano okugenda okuteekebwa ebintu byonna ebikolebwa mu Kisaakaate, wamu n’okutandika ku kaweefube w`okuzimba amaka gabwe amatongole age Kisaakaate e Masuuliita.
Omutandisi w’amasomero ga Janaan Schools Omukungu Micheal Kironde, agambye nti kino kitiibwa kyamanyi okuba nga bongeddwa omukisa okuddamu okutegeka ekisaakaate, baali baasemba okukitegeka mu 2017.
Agambye nti mu kisaakaate kino bagala okukwasizaako abamu ku baana abatalina busoboozi nga babasasuliira ensimbi z`okubatwala mu kisaakaate.
Bisakiddwa: Musisi John