Nnaabagereka Sylvia Naginda asabye Abaganda abali wa bweru wa Buganda okulabira ku bayimbi ba Ganda Boys, okubunyisa ekitiibwa kya Buganda nga bayita mu nkola ey’Obuntubulamu n’okutumbula ennono n’obuwangwa.
Nnaabagereka akyazizza bannabitone aba Ganda Boys okuli Denis Mugagga ne Daniel Ssewagudde nábebaza olwómulimu gwebakoze ogwókubunyisa oluyimba lwékitiibwa kya Buganda munsi yonna.
Nnaabagereka ategeezezza nti obuntubulamu bwakuyamba okusitula obuweereza obwéngeri zonna.
Agambye nti Nnaabagereka Development Foundation yawandiika akataba akalambika obuntubulamu, era ngá nékitongole kyénsi yonna ekya United Nations kyakasiima, olwómutindo kwekaakolebwa era nga kakuyamba aba Ganda boys okutambuza ekitiibwa kya buganda wamu nóbuntu bulamu.
Mu ngeri yeemu Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga naye asisinkanye aba Gonda boys nábeebaza omulimu ettendo gwebakoze ogugendereddwamu okuzza Buganda ku ntikko.
Ba Ganda boys bannyonnyodde ebirungi byebafunye mu kubunyisa ekitiibwa kya Buganda ku ssemazinga zénsi yonna, nga bayita mu nnyimba.
Bisakiddwa: Kato Denis