Akwatidde ekibiina kya FDC bendera Ku Ntebbe ennene ey`obukulembeze bwe bwa Uganda James Nathan Nandala Mafaabi,
agamba nti singa president Museveni yalwanyisa enguzi najimalawo mu ggwanga, obuwereeza obugasiza awamu abantu mu ggwanga bwandibadde ku mutendera gwansi yonna, gamba ng`ebyobulamu, ebyenjigiriza, ebyentambula naddala enguudo nebirala.
Nandala agambye enguzi eviiriddeko emirimu mingi egyandigasizza abantu okudobonkana, n’okulemesa bannauganda okufuna mu ntuuyo zabwe kubanga abamanyi bantu bakozi.
Awadde eky’okulabirako eky’enguudo n’amasannyalaze nti singa bibunyisibwa mu ggwanga lyonna, abantu balina obusobozi obukozesa ebintu ebyo okwetandikirawo emirimu n’okusiga ensimbi mu bintu ebisobola okuganyula ebintu byabwe n’okwekulaakulanya.
Mafaabi era asuubizza okuyamba abalimi b’ebikajjjo bya ssukaali, ng`adibya enkola eyamakolero ga Ssukaali okugerekera abalimi ebbeeyi.
Nandala Mafaabi agamba nti ebbeeyi y’ebikajjo erina kusalibwawo bwetaavu buli mu Katale, so ssi makolero kusalirawo balimi nga bweguli ensangi zino.
James Nathan Nandala Mafaabi binno abyogeredde mu maka ge e Njeru munsisinkano gyabaddemu nebannamawulire, bwabadde tanasimbula kwolera Mayuge ne Jinja okunoonya akalulu.
Nandala Mafaabi agamba nti singa bannaUganda bamulonda nafuuka omukulembeze weggwanga, agenda kukakasa nti abalimi bebikajjo bafuna ebbeeyi ennungi.#













