Boodi y’Ekitongole kya Kabaka ki Namulondo Investment empya etongozeddwa, n’Okusaba abagikulembera okubeera abayiiya ennyo, banunule ensimbi z’obupangisa Obwakabaka zebubanja government eya wakati.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’abadde agitongoza ategeezezza nti ebizimbe by’Obwakabaka byonna government byepaangisa, ensasula yabyo ekyali nzibu ddala.
Katikkiro asabye abaweereza mu kitongole kino bongere Omutindo ku bizimbe by’Obwakabaka byonna, okulaba nga biri mu mbeera nnungi, mungeri yeemu naasaba wabeewo enkolagana ennungamu mu bitongole byonna.
Minister avunaanyizibwa ku ttaka n’ebizimbe Owek.Daudi Mpanga agambye nti boodi etongozeddwa agirinamu essuubi ery’okusitula obuweereza mu kitongole kino ekya Namulondo Investments Limited.
Ssentebe wa boodi empya era ng’abadde ne ku nkadde Omuk Fred Mutebi Kitaka, agambye nti baakwongera okukola buli kisoboka okulaba ng’obuvunaanyizibwa obubakwasiddwa babutuukiriza.
Fredrick Mutebi Kitaka Ssentebe, amyuukibwa Dr Ian Ssenkatuuka, ba memba abalala kuliko Candy Namayanja Mpanga, Dan Kasirye, Omuk John Kitenda, Omutaka Shiba Kakande Kasujja, Sarah Kironde Musoke, Gloria Evelyn Nalumansi, Mark Kayongo, Joseph Yiga.
Bisakiddwa: Kato Denis