Akulira ekitongole kya America eky’ebyenkulaakulana ki United States Agency for Development (USAID) mu Uganda Richard Nelson asabye government okussa ensimbi eziwera mu by’obulimi mu kitundu ky’e Karamoja ng’erimu ku kkubo erigenda okukendeeza ku butabanguko mu kitundu kino.
Richard Nelson abadde mu musomo ogutegekeddwa Speke Resort Hotel mu Kampala ogutegekeddwa okukubaganya ebirowoozo ku nkulaakulana y’e Karamoja, n’okumalawo obutali butebenkevu obuli mu kitundu ekyo.
Richard Nelson agamba nti singa government enateeka ensimbi mu by’obulimi mu Karamoja, kigenda kuyambako okusika bamusiga nsimbi bangi okwettanira ekitundu kino ate saako okwongera ku bungi bw’emmere mu ggwanga.
Agambye nti engeri yokka eyokuyambamu Uganda okuyita mu kyeya nga tekoseddwa bbeyi ya mmere okulinnya kwekutumbula eby’obulimi mu kitundu kye Karamoja.
Ssentebe wa district ye Amudat Joseph Nangole Lobot agambye nti singa government eyambako Karamoja okulima emmere mu bungi, kyakuyamba Karamoja okuva mu kusabiriza emmere.
Bisakiddwa: Wasajja Mahad