Charles Bbaale Mayiga Junior ne Sonia Elizabeth Nnaabagereka bagattiddwa mu bufumbo obutukuvu mu Lutikko e Lubaga.
Omwepisikoopi w’e Masaka Bishop Serverus Jjumba y’abagasse nga 10 February,2024.
Abagole Charles Bbaale Mayiga Junior ne Sonia Elizabeth Nnabagereka bombi bannamateeka , bakubye ebirayiro mwebeesuubirizza okukuumagana okutuusa Okufa.
Omusumba Jumba mungeri yeemu asabye abakubye ebirayiro okukimanya nti obufumbo bwebagenzeemu ssi ndagaano nti eriko ekkono, wabula okukuumagana n’Okubeeragana okutuusa okufa.
Bbaale mutabani wa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Omukolo gwetabiddwako, Nnaabagereka Sylvia Naginda, Nnaalinnya Dorothy Nassolo, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, abalangira n’Abambejja,abataka abakulu ab’obusolya,ba minisita ba Kabaka, n’abakulira ebitongole bya Buganda.
Bannaddiini okuva mu nzikiriza ezenjawulo babaddewo.
Sipiika wa parliament Annita Among, saabalamuzi Alphonse Owinyi Dollo, abakungu abalala okuva mu government eyawakati, ababaka ba parliament n’abantu abalala bangi betabye ku mukolo guno.
Oluvannyuma lw’okukuba ebirayiro mu lutikko e Lubaga, abagole basembezza abagenyi babwe ku Serena Hotel mu Kampala.#