Eyaliko omubaka wa Kawempe South Mubaraka Sserunga Munyagwa “Mugaatigwabbata” ne Moses Bigirwa eyava mu NUP, ne bannabyabufuzi abalala banjudde ekibiina ky’ebyobufuzi ekiggya bakituumye “Common Man’s Party”
Akabonero k’ekibiina kino Lusaniya.
Abukulembeze ba Common Man’s Party nabo balayiziddwa.
Mu balonddeddwa Mubaraka Munyagwa ye President , Mutazinddwa Muhammod ye mumyuka we, Prof Mukama Namala Dennis yakulira ebyokulonda mu kibiina, Biriggwa Moses eyali mu NUP kati ye Ssaabawandiisi wa Common man’s Party, Ssemakula Habib y’amyuka President era atwala ekitundu kya Buganda, Tuwine John mumyuka wa President western era ye mwogezi w’e kibiina, Mulwanyi Tamino Muhammed mumyuka wa President Eastern, Ebyobulambuzi ne byenfuna balonddeddemu Phillip Magambo ate omumyuka w’omuteesiteesi we kibiina ye Sultan Nkonge.

Munyagwa, agambye nti ekibiina kyabwe tekizze kulwanyisa kibiina kyonna ekiri ku ludda oluvuganya government, bakulwanyisa NRM yokka.
Agambye nti bagenda kusimbawo abantu ku bifo by’obukulembeze ku mitendera gyonna.
Wabula akakiiko akakulira eby’okulonda mu ggwanga n’okuwa olukusa ebibiina by’obufuzi mu ggwanga aka Uganda Electoral Commission kagambye nti ekibiina kino tekanakiwa lukusa lukola byabufuzi, era tekakirina mu biwandiiko byabwe.
Omwogezi wa Uganda Electoral Commission Julius Muchunguzi agambye nti waliwo ebigobererwa okukola ekibiina era bimanyiddwa bulungi, nolwekyo Munyagwa ne banne byebaliko bbo ng’abakakiiko tebabimanyi.
Julius ategezezza nti ku lukalala lw’ebibiina byobufuzi byebalina balinako 27 byokka, ekibadde kyakasembayo okwewandiisa mu bitabo byabwe kye kya People’s Front for Freedom PFF.
Bino webijidde nga ebibina byobufuzi bingi byongera okubangibwawo, nga wasigaddeyo myezi bwezi okulonda kwa 2026 kutuuke#












