Amyuka omwogezi w’ekibiina kya National Unity Platform Alex Waisswa Mufumbiro ng’asinziira mu kkomera e Luzira, awandiikidde Ssaabalamuzi w’eggwanga Dr. Flavian Zeija ng’asaba akkirizibwe afune akakalu ka kooti, asobole okuziika mukyala we eyafudde.
Mukyala wa Mufumbiro nga ye Edith Katende Nabunya yafudde ku ssaawa mwenda ez’ekiro ekikeesezza olwa leero nga 08 April,2026.
Waiswa mufumbiro mu bbaluwa gyawandiise alaze nti yakwatibwa omwaka oguwedde 2025 nga mukyala we mulwadde kookolo, era nti ayise mubugubi watabadde olw’obutaba na busobozi bwa nsimbi okufuna eddagala.
Agambye nti wadde nga bulijjo asaba akakalu ka kooti nebakamumma, naye asabye wakiri akkirizibwe agende aziike ku mukyala we n’oluvanyuma addemu awerenembe n’emisango gye.
Edith Katende Nabunya wakuziikibwa ku Saturday nga 11 April,2026 mu district ye Luuka ku kyalo Busiro.#












