Kkooti Enkulu mu Kampala eragidde eddwaliro lye Mulago okusasula maama obukadde bw’ensimbi 50, oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okulemererwa okumuwa omwana we gweyali azadde.
Omulamuzi Phillip Odoki yawadde ekiragiro kino, oluvanyuma lwa Fatumah Nakayima okuwangula omusango gweyaggula ku ddwaliro ly’e Mulago wamu ne Ssaabawolereza wa government ng’abalanga okubuza omwana we gweyazaalirayo nga 26 December 2015.
Nakayima ng’ayita mu kitongole ekirwanirira eddembe ly’ebyobulamu ki Center for Health Human Rights and Development – CEHURD yekubira enduulu mu kkooti enkulu, ng’alumiriza nti nga 25 December 2015, yagenda mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital ng’alumwa ebisa by’okuzaala, era enkeera walwo yalongosebwa nagibwamu omwana omulenzi eyali aweza kiro 3.5.
Maama ono agamba nti amangu ddala nga yakazaala, abasawo bamutegeeza nti omwana we yali afudde wabula nga bweyabasaba omulambo ne bamutegeeza nga bwe bwebaali tebasobola kuguzuula.
Mu nsala y’Omulamuzi Phillip Odoki agambye nti ekikolwa ekyakolebwa eddwaliro lye Mulago kyakosa Nakayima obwongo nookutyoboola eddembe lye ery’obulamu.
Ekibiina ki CEHURD kyanirizza ensala ya kkooti era nekisaba government okuteekawo era n’okunyweeza enkola ezikakasa nti abaana abazaalibwa mu ddwaliro naddala erya government nga balondoolwa bulungi.
Bagamba nti omusango guno, wadde nga ssi gwe mulundi ogusoose okufiirwa oba okubulwako abaana mu malwaliro agenjawulo, ensala eno ewa omukisa ekitongole kyebyobulamu mu ggwanga okwebubamu ttoki n’okussa ssente mu byokwerinda mu malwaliro.
Bisakiddwa: Betty Zziwa