Ssenkulu wa CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe asabye abantu abeewola nókutereka ensimbi mu bittavu bya CBS okuli Cbs PEWOSA ne CBS Fans Club SACCO okugoberera amateeka nga bakola emirimu gyabwe nga kwotadde nókubeera abayiiya kibataase ebizibu ebiva mu kukolera ebintu wabweru wa Mateeka.
Bino abyogeredde ku Masengere bwabadde asisinkanye ba Memba bébittavu bya CBS ebyo nékigendererwa ekyókwongera okubalambika ku ngeri gyebalina okuddukanyamu ebittavu byabwe.
Abaanjulidde enteekateeka empya ezigenda okugobererwa nga kwekuli nókwegatta ku kittavu ekitaba ebittavu bya CBS byonna mu ggwanga nga kino kiyitibwa CBS Fans Club SACCO National.
Omukungu Kawooya era abasabye okwewala okwenyigira mu bikolwa ebiswaza CBS ate era abasabye okwetaba mu nteekateeka zonna CBS zéebeera ewomyemu omutwe.
Mu ngeri yeemu Omukungu Kawooya abasabye okusikiriza abavubuka okwegatta ku bittavu bino kubanga beebasinga obungi mu Uganda nga okubaleka emabega kibeera kya bulabe.

Omukwanaganya wébibiina by’abawuliriza ba CBS Male Godfrey Busuulwa bano abasabye okwetaba mu mwoleso gwa CBS PEWOSA okuva nga 17 okutuuka nga 22 June,2025.
Bisakiddwa: Ssekajiija Augustus













