Omubaka wa paapa mu Uganda Ssaabasumba Luigi Bianco asabye abakiriza okweteekateekanga n’okukola ebikolwa ebyekisa kubanga okuffa tekulaga .
Bino abyogedde akulembedde okusabira eyali omusumba we Hoima diocese, omugenzi Bishop Edward Baharagate Akiiki mu lutikko e Lubaga.
Pope Nucio Bianco agambye nti Bishop Baharagate alese omukululo mukukkiriza era n’asaba abantu bonna okukolerera eggulu, eby’ensi bireme kubemazaamu.
Katikkiro wa Buganda Owekitiibwa Charles Peter Mayiga agambye nti Bishop Baharagate obulamu bwe bunyonyola kinene, era buyigirize abantu abakola mu wofiisi engeri gyebalina okweyisa nga bawummudde .
Bishop Baharagate yazaalibwa mu 1930 mu district ye Masindi e Nyamagisha ng’era wafiiridde abadde ayina emyaka 92.
Wakuziikibwa nga 12 April, 2023 e Hoima.
Bisakiddwa: Joseph Balikuddembe